TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi ku akeedi ezaggaddwa baagala abagagga babaliyirire

Abasuubuzi ku akeedi ezaggaddwa baagala abagagga babaliyirire

Added 13th November 2018

ABASUUBUZI bannannyini maduuka abagagga ge baggala ku Lwokuna lwa wiiki ewedde bawandiikidde bannannyini bizimbe nga babasaba babaliyirire obuwumbi bw’ensimbi 25 ze baafiirizibwa okumala olunaku lulamba lwe bataakola.

 Ekizimbe kya Drake Lubega Muhangi kye yatuumye Horizon City.

Ekizimbe kya Drake Lubega Muhangi kye yatuumye Horizon City.

Bya MOSES KIGONGO
 
ABASUUBUZI bannannyini maduuka abagagga ge baggala ku Lwokuna lwa wiiki ewedde bawandiikidde bannannyini bizimbe nga babasaba babaliyirire obuwumbi bw’ensimbi 25 ze baafiirizibwa okumala olunaku lulamba lwe bataakola.
 
Abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya Kampala Arcade’s Advocacy Forum (KAAFO) baawandiikidde abagagga, Mansoor Matovu amanyiddwa nga Yanga ne munne Drake
Lubega nga baagala babasasule ensimbi zino obutasukka nnaku musanvu okuva kati.
 
Embeera eno okusinziira ku ssentebe w’ekibiina kino (KAAFO), Hussein Kato
agamba nti yafiiriza abasuubuzi baabwe abasoba mu 900 abakolera mu bizimbe
by’abagagga bano ebyenjawulo ensimbi ezikunukkiriza mu buwumbi 20 ekyabawalirizza okubawandiikira nga bayita mu balooya baabwe aba "Kalikumutima
and Co. Advocates baliyirirwe.
 
Abasuubuzi bagamba nti singa ennaku musanvu ziyitawo nga tebaliyiriddwa, baakugenda mu kkooti baloope abagagga bano. Abasuubuzi baagasseeko nti era
baagala abagagga babaddize ensimbi ze bazze babasoloozaako ezitali mu mateeka nga
za masannyalaze.

 

Ekibadde Nabukeera kati Muhangi akituumye Bazanya n’engo

 

Bannamateeka babasuubuzi nabo baataddeyo omuwendo gwa bukadde 50 zibasasulwe abagagga bano bombi olw’omulimu gwe bakoze okubawandiikira ebbaluwa ku lw’abasuubuzi.
 
Yanga bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno, yazzeemu kimu nti takolangako ndagaano
yakuggulirawo basuubuzi bizimbe bye era bwe babeera bagirina bagimutwalire nga
tebannamuwawaabira.
 
Mu kiseera kye kimu, Muhangi yatadde ebipande ku bizimbe ebikaayanirwa ng’alaga nti abikyusizza amannya. Ekizimbe kya Qualicell ekya Drake Lubega yakituumye Horizon City ate ekya Nabukeera ekya Yanga n’akituuma Bazannya n’engo.
 
Abagagga bombi balabudde Muhangi nti by’akola bimenya mateeka era ebipande byonna bajja kubiggyako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...