TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Bbanka Enkulu batunudde ebikalu mu Palamenti

Aba Bbanka Enkulu batunudde ebikalu mu Palamenti

Added 13th November 2018

ABAKULU okuva mu bbanka enkulu batunudde ebikalu mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa okulondoola emirimu n’ensaasanya mu bitongole bya gavumenti aka COSASE, ababaka bwe babatadde ku nninga okuleeta lipoota eraga ebintu bye baasanga mu Teefe Trust Bank nga tebannagiggala mu 1993.

 Gavana wa Bbanka Enkulu, Mutebile (ku ddyo) n’omumyuka we Louis Kasekende nga bali mu kakiiko ka Palamenti aka COSASE.

Gavana wa Bbanka Enkulu, Mutebile (ku ddyo) n’omumyuka we Louis Kasekende nga bali mu kakiiko ka Palamenti aka COSASE.

Bya KIZITO MUSOKE
 
ABAKULU okuva mu bbanka enkulu batunudde ebikalu mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa okulondoola emirimu n'ensaasanya mu bitongole bya gavumenti aka
COSASE, ababaka bwe babatadde ku nninga okuleeta lipoota eraga ebintu bye baasanga mu Teefe Trust Bank nga tebannagiggala mu 1993.
 
Gavana wa Bbanka Enkulu, Emmanuel Mutebile n'omumyuka we, Louis Kasekende be baakulembeddemu abakulu abalala nga bannyonnyola engeri bbanka omusanvu
gye zizze ziggwalwawo okuli; Teefe Bank (1993), International Credit Bank Ltd (1998), Greenland Bank (1999), Co-operative Bank (1999), National Bank of Commerce
(2012), Global Trust Bank (2014) n'okuguza Crane Bank (CBL) eri DFCU bank (2016).
 
Bbanka ya Teefe gye baasookeddeko okubuuliriza nga lipooti y'omubalirizi w'ebitabo bya Gavumenti yalaga nti Bbanka Enkulu mu kugiggala teyalina biwandiiko biraga bya bugagga bya Bank gye baggalawo.
 
Akulira okulondoola emirimu mu bbanka z'ebyobusuubuzi, Tumubweine Twinemanzi yakkirizza nti kituufu ebiwandiiko tebaabirina.
 
Ssentebe w'akakiiko, Abdul Katuntu kino yakiwakanyizza n'asaba omu ku babalirizi b'ebitabo aba Bbanka Enkulu okunnyonnyola era n'ategeeza nti kye baabadde nakyo
si kye kiwandiiko ekituufu.
 
Ababaka okwabadde Moses Kasibante (Lubaga North), Medard Lubega Sseggona (Busiro East), Joseph Ssewungu (Kalungu West) baategeezezza nga bwe bataabadde bamativu ku ngeri bbanka ya Teefe gye yaggalwamu.
 
Dr. Kasekende yabaanukudde nti mu kiseera ekyo mu tteeka kyali tekibakakatako kubeera na kiwandiiko kiraga ebyali mu bbanka gye baggaddewo n'agamba naye amabaluwa baagalina kwe basinziira okuggala bbanka ya Teefe.
 
BANNAMATEEKA B'OBWANNANNYINI BABANJA BBANKA ENKULU BUWUMBI
Ababaka era beekebezze ebiwandiiko ebyaleeteddwa bannamateeka ababanja nga biraga nti babanja ssente ezisoba mu buwumbi 25 ze beeyambisa okuwolereza Bbanka
Enkulu.
 
Kampuni za bannamateeka kuliko; Masembe, Makubuya, Adriko, Karugaba & Ssekatawa (MMAKS Advocates), Bowman's Uganda, Cohen and Collins Solicitors and
Notaries and Sebalu & Lule Advocates.
 
Ababaka ba Palamenti baagala kampuni za bannamateeka balage obukakafu nga ddala basasula omusolo gwa VAT kuba ssente ze babanja ziyitiridde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...