TOP
  • Home
  • Masaka
  • Ebbula ly'abalamuzi lizing'amizza enkola y'emirimu ku kkooti enkulu e Masaka

Ebbula ly'abalamuzi lizing'amizza enkola y'emirimu ku kkooti enkulu e Masaka

Added 13th November 2018

Omuwendo gw'abalamuzi omutono guvuddeko emisango okwetuuma mu kkooti enkulu e Masaka,ne kyeraliikiriza omulamuzi Nabisinde.

 Omulamuzi Nabisinde bwe yabadde atongoza kkooti ey'enjawulo eneewozesa emisango gya naggomola

Omulamuzi Nabisinde bwe yabadde atongoza kkooti ey'enjawulo eneewozesa emisango gya naggomola

 

 

Bya Phiona Nanyomo 

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka, Dr. Winnifred Nabisinde alaajanidde gavumenti okubongera ku muwendo gw'abalamuzi mu kitundu ky'e Masaka mu kaweefube gwe balimu ow’okumalawo emisango gya nnaggomola egikandaaliridde mu kkooti eno.

Nabisinde agamba nti, asanga okusoomoozebwa okw’amaanyi olw'emisango egyetuumye mu kkooti ye ekiremesezza abawaabi n'abasibe okufuna obwenkanya mu bwangu.

Omulamuzi Nabisinde ng'abuuza ku bapuliida ba kkooti y'e Masaka

 

Okwogera bino, Nabisinde yabadde ku kkooti enkulu e Masaka bwe yabadde atongoza kkooti ey’enjawulo egenda okuwuliriza emisango gya nnaggomola 50 egyekuusa ku kukabassanya abaana abawala abatanneetuuka egibadde gikandaaliridde mu kkooti eno.

Mu ngeri yemu, Nabisinde agugumbudde ekitongole kya poliisi ekikola ku kunoonyereza ku buzzi bw'emisango okwesuulirayo ogwannaggamba mu ngeri gye bakwatamu abantu ababa bagenzeeyo okuloopa emisango nga bakozesa obukambwe obususse ekivaako bangi okutya okuloopa emisango gino ne basalawo okuteeseganya n’abo ababeera bagizzizza ekivuddeko emisango gino okweyongera.

Abamu ku bantu abaabaddewo mu kutongoza kkooti n'okukubaganya ebirowoozo ku geri y'okulwanyisa obuzzi bw'emisango egyannaggomola.

 

Mu nsisinkano eno mwetabyemu abakwatibwako ensonga eno omuli bapuliida, abaserikale bapoliisi n'amakomera n'ebitongole by’obwannakyewa eby’enjawulo ebikola ku nsonga z'abaana mu kitundu kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...