TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Added 14th November 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

 Ebinzaali nga bwe bifaanana.

Ebinzaali nga bwe bifaanana.

NGA tukyagenda mu maaso n’okukulambululira ebyali mu musomo gwa ‘The Great Sundonwer’ twayigiririza abantu okukola ebintu eby’enjawulo. Leero kannambulule ku kinzaali omanye emigaso gyakyo egitali gimu.

Jjukira nti edda baakikozesanga nga bakigasseemu omuzigo omuganda ne basiiga omugole eyalinga yeetegekera obufumbo n’aboobera n’abeera n’olususu olugonvu. Ffe abaddawo enkola eno twagidibya, twadda ku saluuni ezibafumbafumba okubaggyako ensusu zaabwe.

Omugole bamukolako mu lunaku lumu wabula oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’olususu luzibikidde, afunye embalabe, akaddiye n’olususu lwonna lukaze. Gino wammanga gye gimu ku migaso gy’ekinzaali; lKyerusa kyokka nga tekisse kirungo ekikuuma langi y’olususu.

Ekinzaali kino osobola okukigatta ne butto w’ennazi omukyala ne yeesiga, era atangaala bulungi ate n’atafuna binnamakula.

Ekinzaali kikola nga ‘toona’ kubanga kikuyamba okutangaala n’otozikira naddala ku mukyala agenda mu mikolo.

Abakyala abatera okumera ebirevu naddala abakozesa ebizigo ebirimu ‘steroids’, kibayamba okubiziyiza olw’okukkakkanya obusimu bw’omubiri.

Osobola okwesiiga ebizigo ebiva mu kinzaali. lEkinzaali tukigatta n’amasavu agava mu luwonzi lw’enkoko omuntu ne yeesiiga. Abalina binnamakula nga baayokebwa ebizigo, ekinzaali kibayamba okutereeza olususu.

Ekinzaali bakikolamu obunzaali awaka, ne bagattamu kaamulali omuddugavu (black pepper). Funa kkiro y’ekinzaali, ogattemu ekitundu kya kkiro ya kaamulali n’obusigo bwa kaliyandula n’ekitundu kya kkiro y’akawunga ka muwogo. Bitabule wamu muveemu obunzaali bw’osobola okulyako n’okutunda n’ofuna ssente.

Butto w’ekinzaali ate ku bbali bye binzaali.

 

Kiyamba okufuula enjuba y’eggi eya kyenvu, ate amagi agagirina ga ttunzi. Ddira butto ava mu kinzaali amatondo 20 ogatabule mu mazzi enkoko ge zinywa. Oba ddira kkiro emu ey’ekinzaali ogitabulemu kkiro 100 eza bulandi ogattemu ne kkiro emu eya ‘black pepper’, enkoko zo zigya kukola enjuba eya kyenvu ate ng’enkoko tezirwala.

Ekinzaali ng’okigasse ne buto ava mu ‘black pepper’ kiyamba ku kiddukano ky’omusaayi mu nkoko. Okozesa amatondo 20, aga ‘black pepper’ n’ekinzaali mu liita 20 ez’amazzi, enkoko ne ziba nga nnamu.

Ayagala okuyiga okukamula butto tukusomesa n’osobola n’okutangira endwadde, kuba kikola nga Anti-biotic ezisinga.

Eyakubwa puleesa ekinzaali kikuyamba okuzzaawo obutoffaali mu mubiri nga buddamu okwezimba. Kiyamba okuzzaawo eyasannyalala n’okugongobala.

Omwana asoma nga tebamukkiriza kukuza nviiri ezitaasa ku musana, muwe ekinzaali kuba kikola ng’ekirungo ekiziyiza okukoowa kw’obwongo n’asigala ng’alowooza bulungi. Abalina alaje, naddala abafuna ebirogologo, weesiige ebizigo ebikoleddwa mu kinzaali okuwonya okusiiwa n’okugoba ebirogologo n’okukkakkanya ssukaali.

Kiyamba okwawula n’okulaga amazzi oba ga alkaline oba ga asidi. Eri omulimi, bw’oba oyagala okulaba ettaka lyo oba lya lunnyo oba lirimu asidi mungi osobola okufuna ettaka eryo n’olissa mu mazzi agafumbiddwa oba amapakire mu ccupa n’olisengejja n’ogakebera ng’okozesa ekinzaali.

Kino okissa ku kapapula, bwe gakyusa langi eya kitaka omanya ettaka lya lunnyo, bwe gasigala mu langi eya kyevu omanya ettaka lirimu asidi. By’oggyamu tebiba bituufu nnyo kubanga osobola okukola ensobi ng’okola ebintu bino.

 Eri omuntu alumwa ennyingo n’abafuna endwadde okuva mu kulya ennyama n’amata, ennyingo nga zikuluma, osobola okusiigawo ekinzaali ng’okigasse ne ‘black pepper’.

lAbaana abalwala omutwe, abagwa ensimbu ekinzaali kibayamba mu butakoowa bwongo. Abalwadde ba sukaali ekinzaali kibayamba okumwenkanyankanya mu mubiri n’atalinnya wadde okukka naddala nga weeyambisa woyiro kubanga atambula mangu okutuuka mu musaayi. Mu baana teeka butto w’ekinzaali mu byokulya byabwe kuba ono yenkana ne kkiro 10 ez’ekinzaali eky’ensaano.

Bw’obaako n’ekikulumye weesiige woyiro w’ekinzaali obutabutuka. Alina enkyakya nga zikumazeeko ebbanga, weesiige buto w’ekinzaali ku bigere bijja kugonda bitereere. lOmukyala eyaakazaala ng’olina mugaba osobola okwesiiga ku buto ava mu kinzaali oba ebizigo ebiva mu kinzaali.

Alina enkovu ezizimba naawe osobola okwesiiga butto w’ekinzaali. 19 Butto ono asobola n’okufumba ne weewala okugula.

Ayamba ku baana nga basabuse ppampa. Musiige butto w’ekinzaali ajja kutereera. Ayamba ku kukuuma olususu obutabutuka olw’omusana n’ebbugumu. Weesiige, butto. Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...