TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Zanie Brown awadde abayizi amagezi ku ngeri y'okufuuka ab'omugaso mu nsi

Zanie Brown awadde abayizi amagezi ku ngeri y'okufuuka ab'omugaso mu nsi

Added 15th November 2018

Zanie Brown awadde abayizi amagezi ku ngeri y'okufuuka ab'omugaso mu nsi

 Zanie Brown ng'ayogera eri abayizi ba Mutund

Zanie Brown ng'ayogera eri abayizi ba Mutund

OMUYIMBI Zanie Namugenyi amanyiddwa nga Zanie Brown, akuutidde abayizi abaatudde eky'omusanvu okufaayo ku mpisa zaabwe yonna gye balaga bafune obuwanguzi mu buli kyebanaakolanga
 
Zanie okwogera bino yabadde ku ssomero  lya Victoria Mutundwe PS e Mutundwe, ng'awa abayizi abamaze eky'omusanvu omusomo gw'okubabuulirira Career guidance ku biki ebisobola okubatuusa ku buwanguzi mu bulamu.

Beegattiddwaako abayizi b'amasomero amalala okuli; Golden Junior School Kawaala ne Makindye Junior School.

Zanie Brown akubye abayizi akaama nti bwebaba baagala okufaanana nga ye, bafeeyo ku  kika ky'omuntu kyebali, beeyise bulungi kuba y'ensibuko y'obuwanguzi mu nsi, kale bafeeyo nnyo ku nneeyisa yaabwe ate bulijjo bafube okukolerera okubeera abawanguzi mu buli kyebakola.

Yabakuutidde n'okukola emikwano egibazimba okutuukiriza ebirooto byabwe nti kale balonde bulungi emikwano kubanga naye kyali leero emikwano emirungi gimuyambye kinene.

Abakuutidde okwagala Katonda kuba y'ensibuko y'amagezi n'okumanya ssaako okuyigira ku bantu abalala naddala abo abakola ebirungi, abasabye okwongera okusoma ebitabo bongere ku bumanyi bwabwe.

Ye Patrick Mukasa nanyini ssomero lya Victoria Mutundwe Ps asibiridde abayizi entanda nti obulamu muzannyo baguzannye bulungi, singa bazannya obubi balemwa, buli kintu bakikole n'amaanyi gaabwe gonna n'omukwano babeere abawanguzi mu nsi.

Oluvannyuma Zannie Brown ayimbiddemu abayizi ennyimba ze nabo nebamulaga kyebalinawo mu mazina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...