TOP

LC y'e kkomamboga eyisizza amateeka amakambwe

Added 15th November 2018

LC y'e kkomamboga eyisizza amateeka amakambwe

Abatuuze nga bali mu lukiiko e Kkomamboga

Abatuuze nga bali mu lukiiko e Kkomamboga

AB’EKOMAMBOGA  kanyanya bayisizza  amateeka  agalina okugobererwa okuli n’erya ba landi loodi okukola endagaano n’abapangisa abayingira amayumba gaabwe.

Oluvannyuma  lw’a Bassentebe ba LC  okulayizibwa  ebyalo bingi byatandika okubaga amateeka agalina okugobererwa abatuuze  ku buwaze ng’ekanyanya Komamboga mu minisipaale ye Kawempe Kakiiko ka LC nga kakulembeddwamu  Michael Buyondo ssentebe w’ekyalo n’omulangira Herbert Kimbugwe ssentebe wa LCII baasomedde abatuuze amateeka .

Mu mateeka agatekeddwa ku kyalo kino kuliko ba landi loodi  okukola endaagano n’abapangisa abayingira mu mayumba gaabwe okumanya ssente ze balina okusasula ,obudde mwe balina okuzisasulira , abantu abalina okusasula mu nju n’ebirala.

Mu mateeka amalala  abamabaala balina okuggalawo ssaawa 6 singa ziwera nga kyalinamu bakasitooma babalagire bafulume oba sikyo okubasibira munda n’ebidongo bigibweko  lino etteeka ligenda kukola ku mabaala agalina layisinsi.

Abazannya zzaala we ssente bagaaniddwa ,okuwemula osasula engasi ye
50,000/ oba okukola bulungi bwa nsi n’amalala

Buyondo ategeezezza nti ekitundu kirimu obumenyi bw’amateeka obwenjawulo okuli ababi abamenya  amayumba , abateega abantu mu matumbi budde  ng’obumu buva ku bavubuka batagala kukola nga bakeera kuzannya zaala kye yagambye nti kati mu kitundu kye kikomye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...