TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muzadde w'omwana eyafiiridde mu muliro ayogge ekibadde ekirooto kyo mwana we

Muzadde w'omwana eyafiiridde mu muliro ayogge ekibadde ekirooto kyo mwana we

Added 18th November 2018

Muzadde w'omwana eyafiiridde mu muliro ayogge ekibadde ekirooto kyo mwana we

 Ssendyoowa ne nnyina Nabuuma.

Ssendyoowa ne nnyina Nabuuma.

EBIROOTO by’abaana 10 abaafiiridde mu muliro ogwakutte ekisulo ky’essomero lya St. Benards SS Mannya nabyo byasirikkidde mu muliro, era abazadde buli lwe bajjukira abaana baabwe bye babadde baagala okuba mu biseera eby’omu maaso, ng’amaziga gabayunguka.

Abakungubazi amaziga gaabayiseemu nga Edward Yiga alombojja ennaku muzukkulu we Emmanuel Kasozi gy’amuleseemu. Yagambye nti gye buvuddeko bazukkulu be nga ne Kasozi kw’ali, baamukyalira era mu mboozi ze baanyuma mwe yababuuliza buli omu ky’asomerera.

N’agamba nti engeri gy’ali omusomesa wa Katekiisimu, yali asuubira Kasozi okumugamba nti ajja kuweereza mu Klezia nga ye wabula yamuddamu nti ayagala kubeera Yinginiya “Wuuyo agalamidde awo n’obwayingiya bwe bw’atatuuseeko, naye agatujju ago geetaaga kugonnomola mu nnyanja ne gazikirira n’emitima gyago emivundu,” Jjajja Yiga bwe yalomboze ebigambo bino mu nnaku ng’omulambo gwa muzzukulu we gukyali mu kidaala. by’abaana baffe nabyo bisirisse’ Dalausi Bukenya Omubaka Mandera (ku kkono) ng’alambula kaabuyonjo z’eddwaaliro.

Saliima Nakintu: Abazadde tulina ennaku ku mutima etalojjeka kubanga okwokya amasomero okugenda mu maaso tetumanyi gye kugenda kukoma. Tusaba poliisi ekole okunoonyereza.

Joseph Matovu: Obuzibu mbussa ku Gavumenti kubanga y’erina okunyweza ebyokwertinda by’eggwanga. Tusaba abakola okunoonyereza bazuule abantu abatuufu abasse abaana bakangavvulwe.

Tabula Nsubuga: Bannaddiini naffe abazadde tuddemu okukuliza abaana mu mpisa ennungi kubanga ebikolwa bino biva ku baana kubeera bamawale nga tebagambibwaako. Poline Nabankema: Nnafe abasomesa ba St. Benard Mannya tetunnamanyira ddala mutemu mutuufu yatwokedde baana.

Tusaba Gavumenti enoonyereze okuzuula ekituufu ekyabaddewo. Abantu bye boogera Annet Nabuuma, maama wa Ssendyoowa nga muserikale wa poliisi akolera e Kamwenge yagambye nti mutabani we abadde yeegomba kubeera muserikale w’amagye era nga tekimuva ku mimwa. “Buli lw’abadde alaba abaserikale nga balina ennyota ku bibegaabega ng’agamba nti njagala kufuuka muserikale nange mbeere ng’abo,” Nabuuma bwe yagambye ng’ali mu maziga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emirango n'ebiwoobe bibuuti...

Emirango n'ebiwoobe bibuutikidde lutikko e Lubaga mu kuziika Ssaabasumba Lwanga

Omukolo gw'okuziika Ssaabas...

Omukolo gw'okuziika Ssaabasumba Lwanga mu bifaananyi

Paapa alonze Bp. Ssemwogere...

Paapa alonze Bp. Paul Ssemwogerere, ow'essaza lya Kasana - Luweero okubeera Ssaabasumba w'essaza lya Kampala ow'akaseera....

Paapa akungubagidde Ssaabas...

Paapa akungubagidde Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ng'ono obubaka obukungubaga abutisse omubaka we mu Uganda,...

Omulangira Ssimbwa

Omulangira Ssimbwa eyasimat...

Omulangira Arnold Ssimbwa afudde. Ono ye Muzzukkulu wa Ssekabaka Muteesa II omukulu era y'omu ku baasimattuka akabenje...