TOP

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo

Added 19th November 2018

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako ababaka ba Palamenti abasukka mu 20 abaamuwerekeddeko.

 Kasibante ne Nattabi nga bamema

Kasibante ne Nattabi nga bamema

Bya MUSASI WAFFE
 
MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako ababaka ba Palamenti abasukka mu 20 abaamuwerekeddeko.
 
Lydia Nattimba yayanjudde bba Kasibante (olumu eyeeyita “Class Monitor”) mu bazadde era emikolo baagitegekedde Kiteezi ku lw’e Gayaza.
 
Kasibante ne Nattimba bamaze mu bufumbo obutali butongole emyaka egikunukkiriza 15 era bazaaliddemu abaana basatu.
 
Omugole Nattabi

 

Mikwano gya Kasibante gibadde gimuyeeya nti wadde y’abaga amateeka, naye ate obufumbo bwe tebuli mu mateeka era kyaddaaki yasazeewo n’abutereeza
ng’atandikira ku kwanjula.
 
Abantu abeetabye ku mukolo naddala abakyala baawuliddwa nga bayisaamu amaloboozi ageebaza Kasibante okukkiriza “n’ayanjulwa mukulu munne” kubanga abasajja bangi bwe bafuna ebitiibwa n’ensimbi balina omuze ogw’okulekawo abakazi bwe beezimbye ne bayingizaawo “embooko”.
 
Ku mukolo guno, Betty Nambooze (Madam Teacher) akiikirira Mukono Municipality wadde yabadde ku miggo naye yabiibizzaamu okulaga abagole essanyu.
 
Abalala abeetabye mu kwanjula kuno kwabaddeko Loodi Meeya Erias Lukwago, Minisita Florence Nakiwala Kiyingi, akulira akabondo k’ababaka abava mu Buganda Johnson Muyanja Ssenyonga n’ababaka abalala okuli: Muhammad Muwanga Kivumbi, David Lukyamuzi, Joseph Ssewungu, Muhammad Nsereko, Latif Ssebaggala, Florence Namayanja, Sarah Nakawunde Temulanda, Lydia Mirembe, Paul Kato Lubwama,
Allan Ssewannyana, Medard Lubega, Paul Mwiru, Peter Mugema Panadol, Veronicah Namanda, Deogratious Kiyingi n’abalala abaali ko mu Palamenti abaakulembeddwa
Moses Kabuusu.
Abamu ku babaka abaawerekedde Kasibante.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Okello Kalule.

Omulimi by'olina okukola ok...

MU Uganda mulimu ebika by'ebinyeebwa ebisukka mu 26 nga buli kimu kisobola okudda kumpi mu buli kitundu kya ggwanga...

Kigoonya.

Nze nnindiridde buwanguzi -...

Bya Vivien Nakitende Angella Kigoonya Namyalo eyeesimbyewo ku bwameeya bwa munisipaali y'e Lubaga ku kaadi ya...

Mberaze aleebya Ssebuggwaawo.

Ebya Mmeeya Ssebuggwaawo bi...

We buzibidde ng'okubala obululu mu bitundu bya Lubaga South eby'enjawulo kulaga nga Munna NUP, Zachy Mawula Mberaze...

Nga bateeka omulambo gwa Bisaka (ku ddyo) mu nnyonyi okugutwala e kapyemi. Eyeeyita Katonda alese ebyafaayo.

Eyeeyita Katonda alese ebya...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Owobushobozi Bisaka ziri mu ggiya. Omulambo gwe okuva e Nairobi gwaleeteddwa mu nnyonyi...

Ggaadi eziwedde okukola.

Okwokya ggaadi za bodaboda ...

BW'OZITUNUULIRA kungulu oyinza okulowooza nti ziggyibwa bweru wa ggwanga olw'endabika yaazo ennungi. Ggaadi zino...