
Minisita Mutuuzo ng'alamusa ku pulofeesa Cypriene Niyomugabo atwala ekitongole ekivunaanyizibwa ku Kinyarwanda. Amuddiridde ye Margaret Nankinga ow'akakiiko ka Luganda, Lusoga, Lugwere. Ate ku ddyo ye Dr. Adam Kimala ne Prof. Sammy Chumubow okuva e Cameroon ng'ono y'akulira akakiiko k'ebyekikugu mu ACALAN.
Bya Ruth Faith Nakanwagi ne Ali Kizza
Minisita w'eggwanga o'wEkikula ky'abantu, Muky. Peace Mutuuzo yalangiridde ennimi nnya Uganda z'egenda okukulaakulanya zibe ennimi z'eggwanga (National languages). Ennimi ze yalangiridde kuliko Oluganda, Runyakitara, Luo, ne Kiswahili.
Bino Minisita yabirangiridde bwe yabadde aggulawo omusomo ogukwata ku mpandiika y'ennimi ennansi mu Afrika omuli Oluganda, Olusomaali, Kinyarwanda/Kirundi, Malagasy ne Kiswahili.
Minisita yategeezezza nti wadde nga twagala enkolagana ennungi n'abantu abalala naye ate tetuyinza kwebalama kukkiriza kye tuli. Yategeezezza nti ebyobuwangwa bwe buwonero bwa Afrika.
Yagambye kyennyamiza okukulaakulanya ennimi z'abalala ne tusuulirira ezaffe.
Yategeezezza nti tulina amawanga 65 mu Uganda n'ennimi ez'enjawulo naye eggwanga lisazeewo likulaakulanye ennimi nnya okusooka n'endala zigoberere.
Yagambye nti ennimi endala nnyingi eziyingira mu nnimi zino ennya ezaalondeddwa ate n’enkizo endala ennimi zino gye zirina kwe kuba nti zisala ensalo ne zikozesebwa n mu mawanga agatwetoolodde.
Yalaze obwetaavu bw'okukola etteeka erifuga ennimi (National Language Policy), n’asaba African Union n’emikago emirala okuyambako Uganda okutuukiriza kino.
Ennimi zino ezaalangiriddwa bwe zinaamala okukakasibwa mu mateeka ga Palamenti olwo zijja kuba Zisobola okukozesebwa mu bukulembeze bw’ebitundu, amalwaliro mu bitundu, ne mu biwandiiko bya gavumenti ebiweerezebwa mu bitundu eyo gye zikozesebwa.
Abamu ku bakiise nga bali mu musomo ku nnimi ennansi.
Ate lwo Oluswayiri bwe lunaafuulibwa olulimi lw’eggwanga kitegeeza nti lujja kuba lubalibwa okuba olulimi oluzaale mu Uganda era nga terukyabalibwa kuba lugwira.
Minisita yagambye nti alina essuubi nti Afrika erituuka ekisalawo n'esalawo okukozesa olulimi lumu Olufirika nga lutegeerwa wonna mu Afrika
Minisita yayaniriziddwa akulira akakiiko k'ebyennimi aka African Union akayitibwa African Academy Of Languages (ACALAN), Dr. Dampha Fafa Lang eyamutegeezezza obukulu bw'okutumbula ennimi za Afrika ennansi kubanga Afrika teyinza kukulaakulana okuggyako ng'eyita mu nnimi zaayo.
Yategeezezza nti Afrika eri mabega mu byenkulaakulana kubanga amagezi mw’eyinza okuyita okukulaakulana gakwekeddwa mu nnimi engwira Abafirika abasinga obungi ze batategeera.
Yalaze obwetaavu bw’okussa amagezi ag’ekikugu aga ssaayansi ne tekinologiya mu nnimi ennansi abantu bagategeere basobole okugakozesa n’okuyiiya ebinaatwala Afrika mu maaso
Eyakiikiridde omukago gw'amawanga g'obuvanjuba bwa Afrika, Mw. Bakaye Lubega yayogedde ku bukulu bw'olulimi Oluswayiri nga olulimi olugatta omukago gw'obuvanjuba bwa Afrika n'asaba Gavumenti mu kitundu zino zifube okulukulaakulanya wamu n'ennimi endala ennansi olw'okutumbula enkulaakulana mu kitundu.
Ye akulira akakiiko ak'ebyekikugu mu ACALAN aka Assembly of Academicians, Polofeesa Sammy Chumbow yategeezezza nti okukkaanya ku mpandiika y'ennimi egendereddwa kuwa nnimi zino busobozi zibe nga zisobola okukozesebwa mu byenkulaakulana ate n'okwongera okukendeeza enjawukana mu by'ennimi zibe nga zikozesebwa okugatta abantu mu Afrika.
Amawanga ageetabye mu musomo guno kwabaddeko Ethiopia, Rwanda, Burundi, Tanzania, Kenya, Madagascar, Comoros ne DRC ne Djibouti.
Omusomo guno ogwamaze ennaku essatu ku Speke Resort Munyonyo,okuva ku Lwokuna okutuusa ku Lwomukaaga gwabadde ku kutereeza empandiika y’ennimi zino abaziwandiikamu ebiwandiiko bonna babe nga baziwandiika bumu, kyanguyiza abazisoma.
Olukuhhaana luno lwetabiddwamu ab'ekibiina ky'olulimi oluganda omwabadde omwabadde Margaret Nankinga, Dr. Adam Kimala, kamisona Pulofeesa Namakula K. Peggy n’abalala bangi.