
Gavana wa Bbanka enkulu Tumusiime Mutebire ng'abuuza ku ssentebe w'akakiiko ka COSASE Abdu Katuntu
AKAKIIKO ka Palamenti akabuuliriza ku nzirukanya y'emirimu gy'ebitongole bya Gavumenti aka COSASE kalagidde omukungu wa Bbanka enkulu eyakuliramu okutunda Bbanka ezaggalwa okuleeta ebbaluwa eyamuwa omulimu.
Ababaka ba Palamenti nga bakulembeddwaamu Abdu Katuntu okuva mu mbeera ne basaba omukungu Ben Ssekabira ebbaluwa eno kiddiridde okumubuuza gye yateeka lipooti zeyakolanga nga by'annyonnyola tebikwatagana.
Kino kiwalirizza ababaka okumussa ku nninga nga baagala abannyonnyole muntu ki eyassa omukono ku bbaluwa eyamuwa omulimu.
Mu kubaanukula agambye nti tajjukira muntu yassaako mukono. kyokka Ababaka bwebamulemeddeko ennyo n'ategeeza nti yandibanga yali Eward Katimbo Mugwanya.
Ababaka bagambye ssekabira addeyo aleete ebbaluwa eyamuwa omulimu kubanga ebiriwo biraga nti kirabika omulimu teyagufuna mu butuufu.
Kyokka ssekabira ku monday yali amaze okutegeeza akakiiko nti ebbaluwa zeyakolanga yaziweerezanga bakamaabe omwali Justine Bagyenda, Margret Kaggwa ne APollo Obbo.
Bonsatule bano bonna eggulo baabaddewo mu kakiiko naye tebaawereddwa mukisa kwennyonnyolako olw'obudde okubeera nti bw'abadde buyise ne balagirwa okukomawo olwaleero.
Ababaka bali mu kunoonyereza ku mivuyo egy'eyolekera mu kuggala Bbank okuli International Credit Bbanka Limitted , Greenland Bbankane Co-operative Bbanka.
Endala zebanoonyerezaako kuliko National Bbanka of commerce, Global Trust Bbanka, Crane ne Teefe Bbanka.