TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. Stella Nyanzi akomezebwawo leero mu kkooti ku gy'okulengezza Pulezidenti

Dr. Stella Nyanzi akomezebwawo leero mu kkooti ku gy'okulengezza Pulezidenti

Added 22nd November 2018

Emisango egimuvunaanibwa mulimu okukozesa obubi kompyuta bwe yeeyambisa omukutu gwa ‘Facebook’ n’aweereza Pulezidenti Museveni obubaka obumuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa ge kyokka n’atakoma okwo n’awemuliramu maama wa Museveni, omugenzi Esiteri Kokundeka.

 Dr. Stella Nyanzi mu kkooti gye buvuddeko.

Dr. Stella Nyanzi mu kkooti gye buvuddeko.

Dr. Stella Nyanzi olwaleero akomezebwawo ku kkooti ya Buganda baddemu ku misango gy'okulengeza pulezidenti Museveni ng’ayita mu bigambo by’awandiika ku mukutu gwa ‘facebook’. 

Nyanzi yasindikibwa mu kkomera e Luzira bwe yeegaana emisango gino era n’agaana n'okusaba okweyimirirwa n’agamba nti k’agende e Luzira asomese abakyala abaliyo engeri gye bakozesaamu omukutu gwa ‘facebook’.

Oludda oluwaabi olwaleero lusuubirwa okutegeeza omulamuzi Gladys Kamasanyu wa okunoonyereza we kutuuse. 

Emisango egimuvunaanibwa mulimu okukozesa obubi kompyuta bwe yeeyambisa omukutu gwa ‘Facebook’ n’aweereza Pulezidenti Museveni obubaka obumuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa ge kyokka n’atakoma okwo n’awemuliramu maama wa Museveni, omugenzi Esiteri Kokundeka.

Oludda oluwaabi lugamba nti ebigambo bino tebyakoma ku kuvvoola Museveni wabula byamumalako emirembe. 

Nyanzi yakwatibwa ku poliisi y’e Wandegeya gye yali agenze okusaba obukuumi nga yeekalakaasa olw’abakulira yunivasite e Makerere okugaana okumuzza ku mulimu n’gate yawangula omusango mwe baali bamuvunaanira okweyisa obubi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...