TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe y'etondedde abatuuze olw'okubatulugunya

Ssentebe y'etondedde abatuuze olw'okubatulugunya

Added 22nd November 2018

Ssentebe y'etondedde abatuuze olw'okubatulugunya

SENTEBE wa zooni ya Butabika Hospital Isaac Namabaale yetondede abatuuze  olwokuvaako  okulwanagana  n’okukubagana nga  balwanira ensalo za  zooni zaabwe   okuli eye mutungo zooni 4,Kasokoso ne Butabika hospital.

Namabaale  okuvaayo okwetonda  kidiridde abamu batuuze  bakulembera  okuvaayo  nebamulumiriza  okukulemberamu  abantu ababalumba ku lunaku  lwomukaaga  nebabakuba  emigo lwebali bategese  olukiiko  olukwata ku  pulojekiti za gavumentu ezokuyisa  oluguudo  mu kitundu kino....

Fred Obo  yagambye nti Namabale baali naye  ku lukiiko   lwa LC1   olwa Butabika  hospital era  nga waliwo emirembe naye  ebweyalondebwa  ate natandikaw olutalo  nga anonya ensalo za zooni gyakulembera ne zooni endala ezimuliranye era  nga kino kyekireseewo obumenyi bwa mateeka mu kitundu .

Oluvanyuma lwokuwuliriza okwemulugunya   kwa batuuze bano   omubaka wa gavumenti e  Nakawa  Herbert Burora  yasabye  namabaale okwogerako eri abatuuze era nabetondera nategeeza nti abadde tamanyi akola nsobi  abada atambulira mu mateeka.

 Gerald Kalibbala nga ono yavunanyizibwa ku byokwerinda  yakwatiddwa mu lukiiko  luno oluvanyuma lwa poliisi okuyaza amaka nebasangayo emigo,engato za maggye wamu nobutayimbwa nga bino abatuuze bamulumiriza nti byakozesa okubatulugunya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...