TOP
  • Home
  • Masaka
  • Abatuuze balumirizza omukulu w'essomero okulya ssente z'okulikulaakulanya

Abatuuze balumirizza omukulu w'essomero okulya ssente z'okulikulaakulanya

Added 22nd November 2018

Abatuuze bavudde mu mbeera lwa mukulu wa ssomero kulemwa kulikulaakulanya ng'ate basonda ssente n'ebikozesebwa ebikalu ne babimuwa okulizimba.

 Omu ku basomesa mu ssomero lya Zzimwe ng'asomesa abayizi aabasomesa mu bibiina eby'essanja

Omu ku basomesa mu ssomero lya Zzimwe ng'asomesa abayizi aabasomesa mu bibiina eby'essanja

Bya Phiona Nanyomo

Embeera y’essomero lya Zzimwe erya pulayimale etabudde abatuuze ne batabukira omukulu w’essomero lino nga bamulumiriza okwezza ssente ezaamuweebwa okukulaakulanya essomero lino.

Bano nga bakulembeddwaamu ssentebe w’eggombolola y’e Kyannamukaaka, Mesach Ssebula bagamba nti bazze basonda ssente n’okuwaayo ebintu ebirala ng’amabaati, amatoffaali n’okugulira abayizi ebikozesebwa kyokka tewali nkyukaakyuka yonna ekoleddwa ku ssomero lino.

Abamu ku bayizi nga bali mu kibiina mwe basomera

 

Ssebula agamba nti, oluvannyuma lw’abatuuze okwekubira omulanga ku mbeera embi abayizi n’abasomesa gye baayitangamu abantu bangi bazze beesondamu ssente naye ekisinga okubeewuunyisa kwe kuba nti mu bbanga ery’emyaka 2 tewali nkulaakulana yonna yaatuukiddwaako ku ssomero lino.

Abatuuze abaakulemberwamu omubaka omukyala owa disitulikiti eno, Mary Babirye Kabanda be bazze beesondamu ssente enkalu, amabaati, okukubisa amatoffaali n’okugulira abayizi ebikozesebwa nga basuubira nti linaabaako akalembereza kyokka n’okutuusa olwaleero tebalina kye baali balabye.

Abayizi mu ssomero lino batutegeezezzaako nga bwe basomera mu bugubi ng’enkuba bw’etonnya ebitabo byabwe byonna bitoba olw’okuba nga basomera mu bibiina bya bisanja, kyokka ng’ate n’olumu abasomesa baawulamu ebibiina bino emirundi ebiri ekintu ekibaleetera okutaataaganyizibwa nga babasomesa.

Ekimu ku bibiina omusomerwa abaana nga bwe kifaanana

 

Embeera y’essomero lino gye lirimu yeeraliikiriza nga mu biseera by’enkuba abasomesa bawalirizibwa okulagira abayizi okudda awaka olw’obutaba na bibiina mwe bayinza kweggama.

Ofiisi y’abasomesa nayo yeewuunyisa  era bw’ogituukako tolemwa kuyungula zziga oluvannyuma lw’okuba nti yazimbibwa mu bisanja ekintu abatuuze kye bagamba nti, Kitamirike tafuddeeyo wadde n’akatono ku mbeera abasomesa gye bakoleramu.

Omukulu w'essomero kitamirike nga yennyonnyolako

 

Bagamba nti, Kitamirike engeri gy’akuttemu ensonga eno ya kwesuulirayo gwa nnaggamba era ng’embeera eno yeevuddeko essomero lino okukwebera buli lukya mu byenjigiriza era ne basaba akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Masaka okubayamba ku Kitamirike gwe bagambye nti kati abafuukidde ekyambika.

Kyokka bino Kitamirike abisambazze ng’agamba nti, wadde ng’abantu abamu badduukirira essomero lino bangi ku bo abeeyama okubakwasizaako tebannatuukiriza bisuubizo byabwe n’asaba abatuuze obutaggwaamu mangu ssuubi basigale nga bawagira essomero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Muzaata

Sheikh Nuhu Muzaata otusadd...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga November 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata.

Kitalo: Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga December 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu...

Sheikh Muzaata

Kitalo Sheikh Muzaata afudde

 KITALO SHEIKH MUZAATA AFUDDE Kitalo! Sheikh Nuhu Muzaata Bbate afudde!. Ono abadde mu ddwaaliro ya International...

Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.

Maama eyakubwa ttiyaggaasi ...

MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro...

Basajja ba Bobi be baakubyemu ttiyaggaasi nga babuna emiwabo.

Nobert Aliho musajja wa Bob...

Abawagizi ba Bobi Wine ababadde batambulira ku kabangali bakiguddeko poliisi bwebakubyemu obukebe bwa ttiyaggaasi...