TOP

Kenzo ayogedde ku ky'okuwasa Rema Namakula

Added 22nd November 2018

Kenzo atabukidde abaamukaka okuwasa Rema Namakula.

 Eddy Kenzo (ku kkono) ng'ayogerera mu lukung'ana lwa bannamawulire

Eddy Kenzo (ku kkono) ng'ayogerera mu lukung'ana lwa bannamawulire

Ebya laavu ya Eddy Kenzo ne muyimbi munne Rema Namakula tebinagwa.  

Kenzo agambye nti tewali agenda kumukaka kuwasa Rema okujjako nga ye kenyini Kenzo yasazzeewo.

“Okuwasa omukazi kiva mu kusiima ng’enkolagana gy’olina ne munno. okuwasa tekuba kwa mpaka era ekiseera ekituufu bwe kinaaba kituuse nga nsazeewo nja kubabulira naye kati mu mbuuze ebirala ebizimba eggwanga.”

Kenzo ne Rema

 

Agasseko nti yeewuunya abantu abatuuka n’okumuwa nsalessale ku ddi lwalirina okuwasa Rema gy’oli nti be bamumufunira.

Okwogera bino abadde ku Serena Hotel mu Kampala mu lukung’aana lwa bannamawulire abamubuuzizza ku laavu ye ne Rema.

Kenzo mu kwogera asoose kusiima bannamawulire olw’obuwagizi bwe bamuwadde ebbanga lyonna n’okumutumbula oluvannyuma abanjulidde enteekateeka z’ekivvulu kye eky’okujaguza obuwanguzi bw’atuuseeko mu myaka  10 gy’amaze mu nsike y’okuyimba.

Ekivvulu kino ekitegekeddwa aba KT Promotions era nga kiwagiddwa kkampuni ya Vision Group effulumya ne Bukedde kigenda kubeerawo nga January 4, omwaka ogujja ku Serena hotel.

Kenzo ne Kavuma (ow'okubiri ku kkono) ategese ekivvulu kye

 

Kenzo era alaze n’obumu ku buwanguzi bwatuuseko mu myaka gino omuli okutalaaga amawanga ng’ayimba, okutandikawo ekibiina kya Big Talent n’okukwata abayimbi abato ku mukono

kyokka abayimbi bano abawadde amagezi okukozesa erinnya lye n’akaddaala kabaterawo okutumbula ebitono ne myuziki wabwe kubanga ng’omuntu tagenda kudda kuyimirira mu bigere byabwe kuyimba.

Dorah Namaala owa Bukedde Tv ku lwa Vision Group ategezezza nga bwe bagenda okutumbula n’okumanyisa abantu byonna ebikwata ku kivvulu kino nga bayita ku mikutu gy’amawulire egyenjawuulo era waliwo n’enteekateeka z’abalabi ba Bukedde Tv n’abawuuliriza ba Bukedde FaMa okuwangula tikiti z’ekivvulu kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...