TOP
  • Home
  • Masaka
  • Fik Fameica ne maneja we babaloopye ku poliisi.

Fik Fameica ne maneja we babaloopye ku poliisi.

Added 24th November 2018

Fik Fameica ne maneja we Kama Ivan biboonoonekedde! Bamuloopye ku poliisi lwa kumusasula ayimbe mu kivvulu n’atalabikako.

 Fik Fameica

Fik Fameica

Eby’omuyimbi Fik Fameica bibi! Bamututte ku poliisi lwa kumusasula ayimbe mu kivvulu n’atalabikako.

Ono bamuloopye ku poliisi y’e Masaka ne maneja we Kama Ivan lwa Fik Fameica butayimba mu kivvulu ekyabadde kitumiddwa ‘Fik Fameica hit after hit’ ku Club Tavern Kick e Kyabakuza mu Masaka.

Okusinzira ku Fred Yiga kitunzi wa club eno agamba guno gwabadde mulundi gwa kubiri nga Fik Fameica bamuwa ssente natalabikako.

Lisiiti n'akapapula akalaga fayiro nnamba y'omusango.

“Twasooka kumupangisa kuyimba nga July 7, 2018 ku bukadde 4  ne tumusasulako 1,500,000/- nga June 4, 2018 balansi amufune ku lunaku lw’okuyimba nga bwe twali tukiriziganyiza kyokka ku lunaku lw’e kivvulu teyajja wabula oluvannyuma yeetonda nasaba tutegeke olunaku olulala.

Twaddamu ne tukiriziganya ayimbe nga November 16, 2018 era nga October 16 ne tubongera obukadde 2 olwo n’aba ng’asigazaayo emitwalo 50 ku bukadde 4 bwe basaba mu ntandikwa.

Byatusobedde era Fik Fameica bwatalabise kyokka nga batukakasa nti ku mulundi guno agenda kujja.” Yiga bwe yanyonyodde.

Ono yagasseko nti ekya ssente tekyandibadde kikulu naye ekikolwa y’omuyimbi kittattana erinnya lya Club y’ensonga lwaki balagidde Hussein Masaka gwe bawa obuvunanyizibwa bw’okutegeka ekivvulu n’okuleeta omuyimbi ensonga azitwale ku poliisi.

Bano bagguddwako omusango g’okukozesa olukujjukujju okufuna ssente oguli ku Ref:05/17/11/2018.

lisiiti kwe basasulira ziri mu mannya ga Kama Ivan era ziraga nti basasulira Fik Fameica kuyimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...