
Pulezidenti Museveni ng’ayanirizibwa mu lukuhhaana olukwata ku tekinologiya ow’omulembe mu by’omusolo. Ku kkono ye Mukiibi akola ng’akulira URA.
Pulezidenti Museveni akikkaatirizza ng’ebitongole ebisinga bwe bigenda okuggyibwawo asigazeewo ekisolooza omusolo ekya URA mu kaweefube w’okukendeeza ensimbi ezibisaasaanyizibwako.
Yalagidde n’aba URA okulaba nga baziba emiwaatwa abantu baabulijjo n’abasuubuzi mwe bayita okubbirira omusolo eggwanga lisobole okweyimirizaawo mu kifo ky’okwewola. “Mulina okulondoola amakampuni g’amasimu ku buli ssimu ezikubibwa mu kifo ky’okwesigama ku bbo kye bagambye ne musinziira okwo okubagerekera omusolo,” Museveni bwe yabasabye.
Yabadde aggalawo olukuhhaana olwa ssaayansi ne tekinologiya mu by’omusolo mu kibiina ekigatta ebitongole by’omusolo mu mawanga ga Africa 38 ekya Africa Tax Administration Forum (ATAF) olwategekeddwa URA.
Olwamaze ennaku ttaano ku Speke Resort Hotel e Munyonyo. Mwabaddemu n’okwolesa ssaayansi ne tekinologiya eyeeyambisibwa okumanya buli kyamaguzi, ebintu ebyeyambisibwa mu kukikola n’ebirala.
Museveni era yalagidde URA okweyambisa tekinologiya mu kulondoola ebyamaguzi ebiyingizibwa mu ggwanga nga buli akwatibwako ssaako naye nga pulezidenti ng’asobola okumanya okwongera okulaga obulambulukufu. “Abantu bangi tebaagala kuwa musolo ate nga beetaaga empeereza.
Bwe twatadde omusolo ku Mobile Money tusobole okufunza abo banneekolera gyange abataagala kuguwa ne bakaaba,” bwe yagambye. Museveni yalabudde URA ku bugayaavu abakozi b’ekitongole kino bwe bakola mu kusolooza ssente mu balina amayumba g’abapangisa.
Yagambye nti okumanya ssente eziggyibwa ku nnyumba z’obupangisa tekyetaagisa bukugu kuba mu Kampala ebizimbe babipangisa mu ffuuti nga buli luguudo lulina emiwendo gyalwo. Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija yagambye nti buli pulezidenti bw’amussa ku nninga ku by’enfuna y’eggwanga naye aba atunuulira URA ng’enkola ya ssaayansi ne tekinologiya gye baatandise asuubira okuvaamu ebibala bingi.
Patrick Mukiibi akola ng’akulira URA yagambye nti enkola ya ssaayansi ne tekinologiya gye batandise okweyambisa mu by’omusolo etandise okubayambako mu kumanya buli ky’amaguzi n’ebikikwatako.
Mukiibi yasiimye Allen Kagina akulira UNRA kuba ye yatandikawo ekitongole ekikola ku kunoonyereza ku babbirira omusolo bwe yali akyali mu kitongole kino era nga mwe muvudde bino byonna.