
Abasuubuzi nga batikkula ebirime mu kifo awagumba ababbi ne bababba. Mu katono ye Ssemakula eyakubiddwa.
ABASUUBUZI abakolera kuokuyimbula ekibinja ky’abavubuka abamenyi b’amateeka ekibakuba n’okubanyaga. luguudo lw’oku Kaleerwe balaajanidde poliisi okukomya
Ekibinja kino kigambibwa nti abakirimu beefuula abasuubuzi abatundira ku luguudo lw’oku Kaleerwe n’ekigendererwa ky’okubba ababba. Abasuubuzi baategeezezza nti bazze baloopa abamu ku bavubuka bano ne bakwatibwa wabula n’akataayi tekasala ne bayimbulwa ne bddamu okubatigomya.
Kino kyaddiridde musuubuzi munnaabwe, Ronald Ssemakula okukubwan’okunyagibwa n’atwalibwa ku kitanda ng’embeera mbi kyokka omu ku baamukubye olwakwatiddwa poliisi n’ayimbulwa nga ne gwe yakubye akyali ku kitanda. omu ku basuubuzi yategeezezza nti waliwo ekibinja eky’omutaawana nga kirabika kirina enkolagana n’abaserikale.
Ssemakula yategeezezza nti nga 18 omwezi guno ekibinja ky’abavubuka abasoba 10 kyagenda mu kifo w’atundira obummonde ne kimwesonsaako ne batandika okumukuba ebikonde n’ensambaggere n’agwa wansi. Yagasseeko nti mu nsawo yalinamu emitwalo 60 ne bagitwala ng’emmere yali asuubudde ya mitwalo 20 nayo n’eyonoonebwa.
Yayongeddeko ng’amaze okukubwa yagenze ku poliisi y’oku Kaleerwe n’agulawo omusango ku fayiro SD: 13/18/11/2018 oluvannyuma abasirikale baamulagidde asooke agende mu ddwaaliro. Agamba nti mu kiseera kino alumirizibwa omutwe ne mu kifuba.
“Nagenze mu ddwaaliro lya Peak Medical Centre ne bampa ekitanda wabula nagenze okuvaayo nondoole omusango n’okulaba omu ku baankuba eyabadde akwatiddwa ng’ayimbuddwa tusaba omubaka wa pulezidenti okutuyambako kuba abaserikale ba poliisi tebakyalumirirwa bantu bbo baliwo kukola ssente” Ssemakula bwe yategeezezza
Poliisi yategeezezza nti kituufu akabinja k’abamenyi b’amateeka weekali nga bazze bakwatako abamu naye abasuubuzi tebaagala kugenda ku poliisi kubawaako bujulizi.