TOP

Namatovu eyawangudde engule ya AFRIMA alaze kyazzaako.

Added 26th November 2018

Bebe Cool, Irene Namatovu ne Sandra Nankoma bavudde e Ghana na buwanguzi.

 Irene Namatovu n'engule gye yawangudde

Irene Namatovu n'engule gye yawangudde

“Eya AFRIMA ewedde kati njagala BET ..” bwatyo omuyimbi Irene Namatovu bwatandise ng’ayogera ku buwanguzi bwe yatuuseko mu mpaka z’okuyimba eza All Africa Music Awards 2018’  (AFRIMA) ezabadde mu kibuga Accra e Ghana ku Lwomukaaga.

Oluyimba lwe ‘Nsambila nyuma nga janzi’ lwawangudde engule y’oluyimba lw’obuwangwa olusinga mu Africa(Best Artist, Duo or Group in African Traditional).

“Bulijjo mbiraba ku Ttiivi naye ku mulundi guno nze eyabadde ku ntibe za Ttiivi ezenjawulo mu nsi yonna nga bankwasa engule era neebaza Katonda n’abawagizi bange mu nsi yonna olw’obuwanguzi buno.”

Eno ye ngule, Namatovu gyasoose okuwangula wabweru wa Uganda era agamba nti kati ayagala kukolera ya BET.

“E Ghana nasisinkanye n’okukola omukwano ku bayimbi bamannya mu nsi okuli; Yvone Chaka Chaka, 2Face n’abalala era bano bampadde obuvumu n’obukodyo byesobola okweyambisa okuwangula engule enddala ate waliwo n’abasuubiza kkolabo.” Namatovu eyakomyewo mu ggwanga bwagasseko

omulamwa, okujjayo embeera y’obuwangwa bwaffe wano, enyamabala, amazina ssaako ensengeka y’ebigambo bye bimu ku byawangusizza oluyimba lwa Namatovu.

Bebe Cool (ku ddyo) ne Nankoma nga bakutte engule.

Mu bbalala abawangudde kuliko; Bebe Cool eyameze Omutanzania Diamond Platnumz n’abalala ku ngule y’omuyimbi omusajja asinga okuyimba mu buvanjuba bwa Afrika (Best Male East Africa).

Ono yewaanye nga bw’ali ‘Big size’. yabadde ayambadde enkofiira okuli ekigambo ‘Silent majority’ engombo gyakozesa ennaku zino yagambye nti “ mu bukakamu (busirise) mwenkolera”

Ate Sandra Nankoma ng'ono abasinga babadde tebamumanyi yeewunyisizza abantu bweyawangudde engule y’omuyimbi omukyala ayimba ennyimba ezisinga okuzaamu abantu essuubi (Best Female Artiste in African Inspirational Music).

Abalala abavuganyiza; Sheebah Karungi yavuganziza ne Namatovu ne Nankoma ku ngule y’omuyimbi omukyala asinga okuyimba mu buvanjuba bwa Afrika (Best Female East Africa)

Ate ye Sasha Vybz eyakola vidiyo ya Freedom eya Bebe Cool yavuganizza ku ngule y’omukozi wa vidiyo asinga (video director).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...