
Dr. Kiggundu
DR. Samuel Elbderd Kiggundu 73, atulise n’akaabira mu kakiiko ng’ategeeza Omulamuzi Catherine Bamugemereire ng’abanene mu gavumenti bwe beesomye okutwala ettaka lye e Busega eriweza yiika nnya ne basalawo okumusiba n’okumuggulako emisango mu kkooti.
Dr. Kiggundu yayitiddwa mu kakiiko akannyonnyole ku mivuyo egiri ku ttaka eriweza yiika 600 e Kisigala Mityana. Waliwo abeekubira enduulu mu kakiiko nga bagamba nti basindiikirizibwa okuva ku ttaka lino so nga baaligula.
Ettaka liri ku bulooka 233 poloti 13 e Mityana, abadde akyannyonnyola n’akyuka omulundi gumu n’ategeeza akakiiko nti ye watuuse eby’ettaka bimutamye n’essuubi limuweddemu kubanga tafunye bwenkanya mu kkooti. “Ekiseera kyendimu kati ntuuse okufa nga sifunye kuyambibwa naye bwe ndisisinkana kitange mu ggulu ndimutegeeza nti nalwanako kyensobola” Dr. Kiggundu bwe yaggumizza.
Ategeezezza nti ettaka eriweza yiika nnya e Busega mu Kampala lizze lisengako abantu kyokka liriko abanene mu gavumenti, abawawaabidde mu kkooti n’ebalemwa ne bwe yabatwala mu ofi isi ya pulezidenti tafunyeyo kuyambibwa. Omulamuzi yategeezezza Dr. Kiggundu nti bagenda kumuwa omwagaanya nga tali mu lujjudde ategeeze akakiiko, abanene abamu