TOP

Okwekebeza namala kufi irwa baze n'abaana 4

Added 28th November 2018

Okwekebeza namala kufi irwa baze n’abaana 4

NNAALONGO Dina Biira Rwankore teyasooka kukikkiriza nti alina akawuka ka mukenenya n’okugenda okwekebeza yakiraba nga ekiswaza kubanga mu biseera ebyo ng’okulabika nti olina akawuka kyabanga kya buwemu.

Biira yagambye nti: “ Okwekebeza namala kufi irwa baana bange bana ne baze n’afa kwe kukkiriza okukeberebwa era bwe nazuula nti nnina akawuka kwe kutandika okumira eddagala nga natandikira ku Septrin. Eddagala lyasooka kummalamu maanyi okutuusa bwe nalimanyiira era abaali bambalidde mu bagenzi baalaba nga ntandise okudda engulu”. Yategeezezza nti mu biseera ebyo waliwo obulimba obwatambuzibwanga nti bw’omira eddagala osooka kukuunyukako nviiri n’enjala ne zivaamu. Kyokka ye bwe yatandika okumira edagala yagenda okulaba ng’akubye ku matu n’atandika n’okukwata enkumbi okulima naye ng’abamulaba bamwogerako nti mulambo ogutambula.

Yasooka okufuna okukaluubirirwa kubanga eddagala yaliggyanga Mbarara mu TASO naye ekitongole kya ICOBI bwe kyaggulawo, yasaba n’akyusibwa n’azzibwa e Bushenyi okutuusa bwe baggulawo ettabi e Kabwohe olwo kwe kutandika okuliggyanga awo.

Rwankore yasangiddwa ne Christopher Rwebuga okuva mu disitulikiti ye Sheema nga bali ku ddwaaliro lya Bushenyi Medical Center ku tabi lyalyo e Kabwohe eriri wansi w’ekitongole kya Integrated Community Based Initiatives (ICOBI) ekyatandikibwawo Dr. Eliod Tumwesigye ne banne.

Baategeezezza nti okukebera okwatandikibwawo nga kuva nju ku nju kwabawonya kubanga baali batidde okugenda mu lujudde okwekebeza. Rwebuga yategeezezza nti yasooka kulwala musujja n’oluvannyuma n’akubwa kisipi mu bulago, bwe yagenda mu TASO e Mbarara n’azuulibwa nti alina akawuka akaleeta mukenenya. Yasooka kweraliikirira okuleka abaana be abato naye bwe yabuulirirwa n’atandika okufuna obujjanjabi okuva mu TASO e Mbarara oluvannyuma n’agenda e Kitagata gye yava okwegatta ku ICOBI.

Yaweebwa omulimu gw’okubuulira abantu obukulu bw’okwekebeza akawuka ka Mukenenya nga ne mukaziwe yamukebeza ne batandika eddagala. Rwebuga yategeezezza nti abaana be yeeraliikiriranga babakuzizza ng’asembayo kati ali mu ttendekero ly’ebyemikono Omu ku batandisi ba ICOBI, Dr. Eliod Tumwesigye yategeezezza nti oluvannyuma lwa mugandawe okufa Mukenenya yasalawo ne banne okutandikawo Integrated Community Based Initiatives (ICOBI) nga kyatandikira mu bizimbe by’eddwaaliro e Bushenyi ebyabaweebwa Obulabirizi bwa Ankole.

Dr Tumwesigye yategeezezza nti mu budde obwo abantu baali baddukira Kitagata okunywa amazzi ago n’okugenda e Ssembabule ew’omukazi Nanyonga eyagabanga ettaka ng’agamba nti livumula. Nga batandise ekitongole kino kyayambanga ku TASO eyali mu Mbarara ng’abantu bakaluubirirwa okugenda e Mbarara okwekebeza. Dr. Viana Namanya nga y’akulira eddwaaliro lya Bushenyi yategeezezza nti kati mu Bushenyi ICOBI balabirira abantu 5,000.

Yategeezezza nti ekisinze okusiba akawuka mu bitundu bya Bushenyi kwe kuba nti abantu bayitirizza okwegadanga okutali kwa buvunaanyizibwa naddala mu bavubi n’abakazi abeetunda mu bibuga nga Mbarara, Bushenyi ne Ishaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...