TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakoze effujjo mu kuziika eyafiiridde mu Mayanja

Bakoze effujjo mu kuziika eyafiiridde mu Mayanja

Added 28th November 2018

Bakoze effujjo mu kuziika eyafiiridde mu Mayanja

ABAVUBUKA bakoze effujjo bwe basituddewo omulambo gwa Ssaalongo eyafiiridde mu mugga Mayanja e Wakiso ne bagutwala ku ntaana okuziikibwa nga bagamba omusumba yabadde atutte obudde bungi mu kiseera ky’okusaba.

Bino byabaddewo Lwamukaaga e Nampunge mu ggombolola y’e Kakiri mu lumbe lwa Ssaalongo Jackson Ssempiira 62, eyagwa mu mugga ng’agezaako okutaasa omuyizi Charlotte Nakanwagi owa S2 naye eyafa.

Akabenje ku mugga kaaliwo Lwakuna era ng’emirambo gyabwe gyazuuliddwa balubbira ba poliisi. Nakanwagi ye yaziikiddwa ku biggya bya bajjajja be e Lugungudde.

Okusaba okwakulembedde okuziika Ssempiira kw’abadde kukulembeddwaamu Rev. Edward Tamale omusumba w’obusumba bw’e Mwera mu Bulabirizi bw’e Namirembe.

Yakubirizza abantu okuwulirizanga amateeka n’ebiragiro ebibaweebwa kuba bangi bafunye obuzibu nga buva ku butawuliriza. “Nneewuunya okuba ng’abafudde poliisi yali yabalabula obuteetantala kuyita ku mugga we gubomose naye ne balemerako ekintu ekyatutte obulamu bwabwe,” Tamalebwe yategeezezza.

Yayongedde n’asaba abakkiriza okunywerera ennyo ku Katonda mu bintu bye bakola olwo basobole okufuna bye baagala n’obulamu obulungi. Abooluganda lw’abagenzi nga bakulembeddwamu Kansala wa Kakiri ku Town Council ye Kakiri Rebecca Nakibirango, beebazizza nnyo abantu bonna abalina kye bakoze mu kuzuula abantu baabwe ne beebaza ne poliisi okusingira ddala eya ba Lubbira olw’omulimu gwe bakoze okulaba ng’emirambo gy’abantu baabwe girabika ne bagiziika mu kitiibwa.

Omugga Mayanja gwabomoka ne guleka ebitundu bya Wakiso okuli Namayumba, Gobero, Masuulita ne Mmende nga bali mu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...