TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eby'afaayo by'omugenzi Musumba eyafiiridde mu mazzi

Eby'afaayo by'omugenzi Musumba eyafiiridde mu mazzi

Added 30th November 2018

Eby'afaayo by'omugenzi Musumba eyafiiridde mu mazzi

OKUKOLA ennyo, obugumiikiriza, okuwa abantu ekitiibwa n’okutya Katonda gwe musingi omusuubuzi Yoweri Musumba 47, eyafi iridde mu lyato kw’abadde atambuliza obulamu bwe.

Yava mu kyalo gy’azaalwa e Nawanjiri ekisangibwa mu ggombolola y’e Butayunja e Busujju mu disitulikiti ye Mityana ng’atunda ngoye awamu n’okulima. Agenze okufa ng’ebyobugagga alina bya buwumbi, wadde nga yazaalibwa mu famire ya bulijjo.

Okusinziira ku Samuel Rwegiza, muganda wa Musumba, omugenzi yasooka kutunda ngoye ze yasibanga mu mugugu gwe yatambulizanga ku ggaali maanyi ga kifuba. Engoye yasooka kuzitunda mu butale bwa mubuulo nga Kitongo, Mpenja n’obulala.

Ku busuubuzi kwe yagatta okulima ebirime mu bungi mwe yaggya ssente. Bwe yalaba ssente ziweze yasiibula ekyalo n’ajja e Kampala ng’ali ku mulimu gwe gumu ogw’okutunda engoye.

Omulimu gw’obusuubuzi yaguyigira ku muganda we, omugenzi Emmanuel Kalwanga (y’azaala omubaka David Lukyamuzi Kalwanga). Emmanuel Sembuusi Butebi ssentebe w’abasuubuzi be Mityana abeegattira mu kibiina kya MITA yagambye nti yasooka okusisinkana Musumba ng’atunda ngoye ku luguudo lwa Ben Kiwanuka Street mu 1994 mu dduuka eryali liyitibwa Nansagazi.

Mu kiseera ekyo yali atunda empale n’amasaati. Musumba bwe yategeera Butebi nti w’e Mityana kyayongera okubagatta ennyo ne bafuukira ddala baaluganda. Rwegiza yagasseeko nti Musumba ssente bwe zeeyongera yatandika okusuubula e Kenya, Dubai oluvannyuma amakanda n’agasimba e China abasuubuzi abamu gye baali batya mu kiseera ekyo. Bangi ku bagagga b’omu Kampala baamuwanga abaana baabwe ne bagenda naye okusuubula e China kuba bo baali tebeekakasaayo.

Bangi baagenda okutegeera nti e China wafuna nga ye Musumba yakakata dda. Okutuukira ddala okufa, Musumba abadde tavanga ku mulimu gwa kusuubula ngoye era ng’olumu aleeta konteyina eziwera 10 omulundi gumu n’azisuubuza mu Kampala.

ABADDE AJJUMBIRA EMIRIMU GY’EKKANISA

Musumba abadde muntu nnyo wa kkanisa era ng’abadde alina obuweereza obw’enjawulo. Omulabirizi Michael Lubowa owa Central Buganda yagambye nti yasooka okusisinkana Musumba bwe yabayamba mu kuzimba ekkanisa y’e Busimbi mu kibuga Mityana.

Omusuubuzi Kiyimba Freeman ye yakuη− ηaanya abagagga bwe yali akulembeddemu omulimu gw’okuzimba ekkanisa. Bwe kyatuuka mu kuzimba ekkanisa ya Lutikko y’e Mityana eri e Namukozi, Musumba era yali mpagi luwaga kuba yawaayo kinene mu kuzimba. Ku kyalo kw’azaalwa e Nawanjiri era gye yaziikiddwa w’afi iridde ng’ali mu kuzimbayo kkanisa ey’obuwangaazi era we yafi iridde ng’omulimu guli ku woolo puleeti. Yategeezezza nti abadde yamusuubiza n’okumukwasizaako ku mulimu gw’okuzimba ennyumba y’Omulabirizi e Kasaka mu Gomba awali ekitebe ky’obulabirizi bwa Central Buganda. Ekyewunyisa abadde awagira emirimu gy’eddiini endala era ayambye mu kuzimba Eklezia n’emizikiti egiwerako mu bitundu ebyenjawulo.

ABADDE ASITUKIRAMU KU BYA BUGANDA Bwe kituuka ku nsonga za Buganda abadde mukungu ku lukiiko lwa Buganda Twezimbe olwateekebwawo Katikkiro okusobola okukuηηaanya ssente z’okuzimba Amasiro n’emirimu emirala. Mu kiseera ky’okusonda ssente z’ettoffaali, Musumba yakulemberamu Bannabusujju ababeera mu Kampala ne bamulonda ku bwassentebe bwabwe era omulimu n’agukola bulungi okutuusa w’afi iridde. Ne mu kusolooza Ettofaali mu Kampala, Musumba y’omu ku baawaayo ekinene. Olw’obuweereza obulungi eri obuganda, abadde yaweebwa ekitiibwa ky’obukungu. Omwami wa Ssabasajja atwala essaza lye Busujju, Mark Kaberenge Jingo Byekwaso yayogedde ku Musumba ng’omusajja eyakola ssente ku myaka emito n’agaggawala kyokka n’ateerabira ssaza lye gye bamuzaala.

Yagambye nti omugenzi lubadde lujegere lunene ku Bannabusujju n’abantu be Kampala kuba bangi babadde batuukira wuwe n’abagatta ku bantu abalala. Bwe kituuka ku nsonga z’omupiira abadde ateeka ssente nnyingi mu ttiimu y’omupiira. Byonna mu kubikola abadde mwetoowaze, ateemanyi, teyeeraga era ng’akoze kinene mu kukuuma obutonde bw’ensi kuba asimbye ebibira ebiwera.

ALESE BIZINENSI NKUMU Abadde alina ekkolero ly’ebibajje ly’azimba e Buloba ku lw’e Mityana ng’afudde likyazimbibwa. Abadde alina ebisulo by’abayizi ebiwera bisatu ng’ekisinga okumanyibwa ennyo kye kya Dream World Hostel esangibwa e Makerere-Kikoni.

Y’abadde nnannyini kizimbe kya Dream World ekisangibwa ku luguudo lwa Nakivubo Mews mu Kampala kw’ogatta n’amaka agatemya ng’omuntu e Bwebajja ku lwe Ntebe. Abadde n’amayumba g’abapangisa agawerako mu bitundu bya Kampala naddala ku busozi bw’abagagga nga Kololo ne Naggulu.

Oluvannyuma lw’ekiseera Musumba yagenda ayingirira bizinensi endala nga w’afi iridde ng’alina amaduuka g’eddagala ly’ebirime, ali mu bizinensi y’okuwola ssente era nga mwegassi. Y’abadde ssentebe w’ekibiina ky’abagagga ekya “Tulibumu Club ”. Musumba w’afi iridde ng’alina bizinensi eziwerako okuli ettaka mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo kwabadde alimira n’okulunda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...