TOP

Bukedde esiimiddwa olw'okulwanyisa Siriimu

Added 2nd December 2018

Bukedde esiimiddwa olw'okulwanyisa Siriimu

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde esiimiddwa olw’okulwanyisa Siriimu n’ewebwa engule ku mukolo gw’okukuza olunaku lwa Siriimu olubaawo December 1.

Ate omumyuka wa pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi naye asabye bannaddiini okwongera essira mu kubuulirira abantu okwewala Siriimu n’okwejjanjabisa nga bamufunye buli lwe baba babuulira mu masinzizzo.

Bino byabaddewo ku mukolo gw’okukuza olunaku lwa Siriimu egyakuziddwa e Bugobero mu disitulikiti y’e Manafwa mu Bugisu.Kkampuni ya Vision Group efulumya empapaula okuli New Vision, Sunday Vision, Bukedde, Bukedde kuSande,Rupiny,Etop,Orumuri ng’erina ne leediyo ne ttivi eziwerako okuli Bukedde Fa, Bukedde ttivi, Urban n’endala ebadde eyita mu mikutu gyayo okusomesa ebifa ku bulwadde buno. Engule yabawereddwa ekitongole ekirwanyisa Siriimu ekya  Uganda Aids Commission n’ebakwasibwa Ssekandi.

Ssekandi yakatirizza nti Siriimu talina ddagala abantu basanidde kwekuuma. N’akunga abantu okutambulira ku mulamwa gw’olunaku ogwabadde ‘’ manya kyoli – wekebeze’’ okwekebezza abakalina bafuna eddagala n’abatanafuna beekuume.Yakunze abazadde okubuulirira abaana okwewala Siriimu nga beewala okwegandanga.

Minisita mu ofiisi ya Pulezidenti Esther Mbayo  ne ssente w’akakiiko ka palamenti aka Siriimu era nga mubaka w’e Butaleja , Molly Mugenyi, baakunze abazadde okulondoola abaana obutafuna bulwadde. Mbayo n’asiima Vision Group olw’okuwaayo obudde okulwanyisa obulwadde.

Abavubuka b’emasaka abalina akawuka kamukenenya bafunye akaseko ku
matama oluvanyuma lw’ekitongole kya Uganda cares mu kitundu kino okubazimbira ekizimbe mwebagenda okutendekebwa emirimu gy’emikono kibasobozese okweyimirizaawo.

 Akulira  ekitongole kya Uganda cares e masaka Henry Magala agambye  nti bawaliriza okuzimbira abavubuka ekizimbe basobole okubakumakuma nga bayita mu kubatendeka emirimu gy’emikono  basobole okufuna ekigulira maggala eddiba.

Ekizimbe kino kiguddwawo minisita avunanyizibwa ku baana n’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi ,ono asinzidde wano nagugumbula abasajja abagufudde omugano gw’okukabasansa abaana abatanetuuka ne bakomekereza nga babawerebwe ebirwadde omuli ne mukenenya.


Nakiwala bano amagezi gabwe agagerageranyiza ku bisolo nga agamba nti
kikwasa ennaku olulaba ng’abantu balemereddwa okukozesa obulungi amagezi katonda geyabawa nga n’ensolo mu kiseera kino zibasinga okutegera nti kubanga zisobola okwawula nsolo zinazo ezitanatuuka kutunuza mu bikolwa by’omukwano ekitali ku basajja.


Nakiwala bano abasabye okwekuba mu kifuba bakomye okutunuza abaana abatanetuuka mu mbuga za sitani nga agamba nti abaana bano bebakulembezze abenkya eggwanga kwerisibidde olukoba .


Ye akulira eby’obulamu mu kitongole kya Uganda cares e masaka Dr.Sulaiman Kawooya agambye nti  omuwendo gw’abantu abalina akawuka kamukenenya gweyongende mu masaka nga kubantu 100 abantu 11-13 bebalina akawuka kano nga nabasinga b’ebaana abawala abali mu myaka gy’ekibuvuka .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...