
Abayizi n'abasomesa nga basala keeke
ABAZADDE basabiddwa okukomya okutunuulira obubonero bw’abayizi wabula bafeeyo n’ekubitone ebiyinza okubayamba mu biseera byabwe eby'omumaaso ng’okusoma kugaanye
Bino bino by'ogeddawa Ibrahim Mawerere nnanyini ssomero lya Tur Education Services Junior school erisangibwa e Nsangi mu Disitulikiti ye Wakiso ku mukolo gw’eby’emizannyo gy’abayizi egikomekerezza omwaka .
Mawerere ategeezezza nti abazadde bangi amaanyi bagateeka ku bubonero bw’abayizi bwe bafunye mu bibiina n’ebeerabira obitone bye yagambye nti bisobola okubeyemirira mu maaso ng’okusoma kuganye.
yagambye nti gavumenti erina okussaawo omusingi mu massomero ku by’emizanyo kuba
yeva abazannyi ba ttiimu y’eggwanga.
“Omwana asobola okubulwa amagezi g’omu kibiina naye ng’alina ekitone ng’okudduka , okusamba omupiira , okubuuka ,okubaka n’ebirala ne bimuyamba mu biseera by’omu maaso kuba era tulabye bangi abazannyi b’omupiira nga n’oluzungu tebalumanyi nga balina ssente” Mawerere bwe yategeezezza
Abayizi baavuganyizza mu mayumba gaabwe mu mizannyo egyenjawulo okuli okudduka , amayumba kuliko Lion ,Leopard ,Cheetah , Tiger ng’era Leopard ye yatutte ekikopo egimu ku mizannyo kwabaddeko okusamba omupiira , okuzina n’ebirala ng’oluvannyuma baatikidde abayiziba Top Class abagenda mu P1 omwaka ogujja .
Hassan Ssemanda 12 omuyizi wa P6 ye yasinze okwolesa ekitone ky’osamba omupiira