TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amateeka g'ebidduka amanafu ge gawaga baddereeva okukola ensobi - Minisita Azuba

Amateeka g'ebidduka amanafu ge gawaga baddereeva okukola ensobi - Minisita Azuba

Added 5th December 2018

Minisita Azuba yategeezezza nti amateeka agaliwo gagenze ganafuwa olw'ekiseera ekiwanvu bukya gabagibwa nga n'ebibonerezo bya mukubyabyayi nga y'emu ku nsonga lwaki abamu ku b'ebidduka ku nguudo bakola ensobi mu bugenderevu.

 Minisita Monica Ntege Azuba  (ku ddyo) ng'atongoza  kaweefube w'okulwanyisa  obubenje  mu nkola  eya Tweddeko.  Ku kkono ye Winstone Katushabe ne Gilbert Assi owa Shell.

Minisita Monica Ntege Azuba (ku ddyo) ng'atongoza kaweefube w'okulwanyisa obubenje mu nkola eya Tweddeko. Ku kkono ye Winstone Katushabe ne Gilbert Assi owa Shell.

MINISITA w'ebyenguudo n'entambula,  Monica Ntege Azuba agambye nti  ennongosereza mu mateeka agafuga ebidduka n'okulwanyisa obubenje ku nguudo  yamaze okutuuka mu palamenti  okugikubaganyaako ebirowoozo nga tennassibwa mu nkola.

Yagambye nti amateeka agaliwo gagenze  ganafuwa olw'ekiseera  ekiwanvu bukya gabagibwa  nga n'ebibonerezo bya mukubyabyayi nga  y'emu ku nsonga lwaki  abamu ku b'ebidduka ku nguudo bakola ensobi mu bugenderevu nga bakimanyi nga bagenda kuwa  engassi ya kagwirawo.

Bino minisita yabyogeredde ku mukolo ogw'okutongoza kaweefube w'okulwanyisa obubenje ku nguudo naddala mu biseera  bino eby'ennaku enkulu baddereeva mwe bavugira obubi naddala endiima  n'abamu nga bavuga batamidde. Yawomeddwamu omutwe kkampuni y'amafuta eya  Shell munkola emanyiddwa nga 'Tweddeko".

Winstone Katushabe  Kamisona  avunaanyizibwa ku mateeka  g'ebidduka   n'okulwanyisa obubenje mu ministule  y'ebyenguudo n'entambula  yagambye nti nga bayambibwako aba  Face  Technologies abakola pamiti za kompyuta bali mu kutendeka ba tulafiki ku ngeri y'okukwatamu  abamenyi b'amateeka ku nguudo.

Gilbert Assi akulira  kkampuni ya  Shell  yagambye nti  kibakakatako okulaba nga  basomesa  abantu  ku ngeri  y'okwewalamu obubenje ku nguudo nga muno muzingiramu n'abantu abali okumpi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...