TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze e Lwengo balumirizza bannaddiini okwagala okubagoba ku ttaka

Abatuuze e Lwengo balumirizza bannaddiini okwagala okubagoba ku ttaka

Added 5th December 2018

Ekisinze okubeewuunyisa be bannaddiini bano okupunta ettaka lyabwe amatumbibudde nga bayambibwako omuserikale OC Mwema ng’akaalakaala n'emmundu era mu kusooka bwe baamuloopera ba bbulaaza bano yeerema okutunula mu nsonga zaabwe.

 Omubaka Muyomba Kasozi (ku ddyo), RDC Nalubega ne ssentebe Kateebe nga bali mu lukiiko. Emabega waabwe ye ku kkono ye OC Mwema ne Sennyonjo (ku ddyo).

Omubaka Muyomba Kasozi (ku ddyo), RDC Nalubega ne ssentebe Kateebe nga bali mu lukiiko. Emabega waabwe ye ku kkono ye OC Mwema ne Sennyonjo (ku ddyo).

ABANTU abasoba mu 150 mu ggombolola y'e Ndagwe mu disitulikiti y'e Lwengo be boolekedde okugobwa ku ttaka olwa bannaddiini be bayise ba 'Bbulaaza' abagambibwa okwekobaana n'akulira poliisi y'e Ndeeba, Micheal Nanywa Mwema kw'ossa n'akulira eby'ettaka ku disitulikiti, Livingstone Ssenyomo ne balibagobako nga bakozesa eryanyi.

Bano nga bava ku byalo bitaano okuli Gayaza, Kakindu, Kibinge - Kito, Kabingo ne Kijjwala be bali mu kattu olw'obukwakkulizo obwabaweereddwa okwamuka ettaka lino kw'ossa n'okuggala enzizi zonna kwe babadde basena amazzi agalabirira amaka gabwe n'ebisolo byabwe.

Ekisinze okubeewuunyisa be bannaddiini bano okupunta ettaka lyabwe amatumbibudde nga bayambibwako omuserikale OC Mwema ng'akaalakaala n'emmundu era mu kusooka bwe baamuloopera ba bbulaaza bano yeerema okutunula mu nsonga zaabwe.

Bagamba nti n'akulira ebyettaka mu Lwengo, Livingstone Ssenyomo agambibwa nti ye yafunira babbulaaza bano ebiwandiiko by'ettaka ebicupule era n'apeekanga abatuuze okumuwa ensimbi ze bagambye nti ziri mu bukadde.

Abatuuze baalumirizza abantu bano ng'ekyapa kwe babasengula bwe kitankanibwa ne basaba Pulezidenti Museveni ayingire mu nsonga zino.

Omubaka w'ekitundu kya Bukoto Midwest, Joseph Muyomba Kasozi yasitukiddemu bukubirire okutaasa abatuuze n'abayimiriza obutava ku ttaka lino okutuusa nga bamaze okwetegereza ekyapa kya ba bbulaaza oba kiri mu mateeka.     Omubaka Kasozi yalagidde Oc Mwema ne munne Ssenyomo okutegeeza abatuuze ekituufu kyokka ne bagamba nti abatuuze babawaayira kuba kyali kibakwatako okuwerekera ba bbulaaza bano okupunta ettaka awamu n'okubawa obukuumi.

Kasozi abalagidde obutadamu kusaalimbira ku ttaka lino yadde okulabikako mu kitundu kino okutuusa nga bafunye ekyenkomeredde mu kakiiko k'ettaka e Masaka. Yagumizza abatuuze nti bwe kinaazuulibwa ng'ekyapa kya babbulaaza bano kituufu era si baakugobwa ku ttaka baakuyita mu nkola ey'okusasula Landiroodi obusuulu.

Amyuka RDC w'e Lwengo, Mariam Sseguya asabye abatuuze okubaloopera abantu abanAasalimbira ku ttaka lino era n'abasaba obutatwalira mateeka mu ngalo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...