TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Nnalulungi wa Uganda, Quiin Abenakyo yeesunga ngule ya Miss World

Nnalulungi wa Uganda, Quiin Abenakyo yeesunga ngule ya Miss World

Added 5th December 2018

Quiin Abenakyo atangaazizza emikisa gye okuwangula engule ya Miss World

 Quiin Abenakyo n'omuddali gwe yawangudde

Quiin Abenakyo n'omuddali gwe yawangudde

EMIKISA kya nnalulungi wa Uganda Quiin Abenakyo okuwangula engule ya Nnalulungi w'ensi yonna (Miss World), gyeyongedde okutangaala bwayongedde okusunsulwamu okutuuka ku bawala 20 abagenda okusindana ku mukolo ogwa kamalirizo okulondako omuwanguzi.

ku Lwomukagga kigenda kutokota nga ssi kisaanikire mu kibuga Sanya ekya China London ng''embooko z''abawala 118 omuli ne Munnayuganda basindana okulondako nnalulungi w'ensi yonna

Okusinzira ku bubaka obuli ku mukutu gwa ‘Miss World' kwe bateeka byonna ebigenda mu maaso mu mpaka zino ezigenda mu maaso mu kibuga Sanya ekya China,

ku kkono lwe lukalala olulaga ensi 20  ate ku ddyo benakyo nga bamwambaza omuddaliku kkono lwe lukalala olulaga ensi 20 ate ku ddyo Abenakyo nga bamwambaza omuddali

 

Abenakyo eyawangudde omuddali mu mutendera abawala bano mwe balagidde ebyo bye bavuddeyo okukola oba engeri gye bayambyemu abantu mu bitundu gye babeera amale ategezezza nga bw'ali mu kawefube w'okuyamba abaana abafuna embuto nga tebanetuuka, y'omu ku bawala 20 kwe bagenda okulonda Nnalulungi w'ensi ow'omwaka 2018- 2019.

Abenakyo enzaalwa ey'e Mayuge mu Busoga, muyizi ku MUBS ettabi lya Yunivasite y'e Makerere erisomesa eby'obusuubuzi e Nakawa.

Sylvia Namutebi eyawangula obwa nnalulungi bwa Uganda mu 2011 era nga naye yeetabako mu mpaka za nnalulungi w'ensi yonna akunze abantu okulonda Abenakyo ekimu ku biyinza okumusobozesa okuwangula engule eno.

Omulamwa gw'omwaka guno mu mpaka zino guli nti, 'Beauty With a Purpose' ekivvunulwa nti Obulungi obw'omugaso era okulonda Abenakyo genda ku mukutu gwa www.missworld.com ogobeere endagiriro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...