TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi esazizzaamu ebivvulu bya Bobi 40: Pulomoota azirise

Poliisi esazizzaamu ebivvulu bya Bobi 40: Pulomoota azirise

Added 6th December 2018

EBIVVULU bya Bobi Wine ebisoba mu 40 ebibadde bitegekeddwa mu nnaku enkulu, poliisi ebisazizzaamu.

 Pulomoota Nassuuna eyazirise ng’ateekebwa mu mmotoka okutwalibwa mu ddwaaliro. Yebulunguddwa Bobi Wine (wakati) ne Chairman Nnyanzi Ssentamu (owokubiri ku kkono).

Pulomoota Nassuuna eyazirise ng’ateekebwa mu mmotoka okutwalibwa mu ddwaaliro. Yebulunguddwa Bobi Wine (wakati) ne Chairman Nnyanzi Ssentamu (owokubiri ku kkono).

Omu ku bategesi olukamutemye n'agwa mu ntebe mw'abadde atudde, n'azirika ne batandika okumuwujja.

Akasattiro kaatandikidde mu bategesi b'ebivvulu ababadde balanga Bobi Wine era ng'ebivvulu byabwe babitambulizza ku luyimba lwe Kyarenga.

Abo poliisi be yasoose okutegeeza nti ebivvulu ebyo bisaziddwaamu. Abaasinze okusattira beebo abaabadde balina ebivvulu wiiki eno omuli n'ekyabadde kitegekeddwa e Nakawuka ku Kisaawe eggulo.

Abategesi b'ebivvulu abasinga, Bobi Wine babadde baamusasulako ku ssente nga bakibaze nti mu nnaku enkulu zino bajja kufunamu nnyo.

EBYABADDE MU LUKIIKO NE POLIISI

Abategesi b'ebivvulu olwategedde nti ebivvulu bisaziddwaamu ne balumba Bobi Wine basalire wamu amagezi.

Bobi Wine yayise balooya be n'abamu ku bayambi be n'abooluganda abatonotono ne basalawo okugenda ku kitebe kya poliisi e Naggulu ebannyonnyole ekituufu kubanga ku bivvulu byonna abapoliisi babadde babiyimirizza awatali buwandiike.

Baasazeewo balabire ddala omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola bafune ekisembayo.

Yawerekeddwaako baganda be; John Ssentamu ne Chairman Nyanzi nga bali wamu ne Tony Ssempijja omukwanaganya w'abategesi b'ebivvulu kw'ossa bannamateeka ba Robert Kyagulanyi (Bobi Wine)abaakulembeddwa Benjamin Katana.

We zaaweredde essaawa 7:30 ez'emisana nga bataka e Naggulu okusisinkana Ochola.

Wabula baabategeerezzaawo nti Ochola yabadde taliiwo naye ng'asigidde Asuman Mugenyi aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga amalirize ensonga ezo. Olukiiko lwatandise nga Mugenyi y'alukubiriza.

Bobi Wine yawadde abategesi b'ebivvulu bye omwagaanya ne balombojjera Mugenyi ensonga zaabwe nga bamulaga obweraliikirivu n'obulabe abantu bwe bayinza okubatuusaako nga basazizzaamu ebivvulu bye baludde nga balanga wamu ne ssente empitirivu ze bagenda okufiirwa ate ezisinga nga baazeewola bwewozi.

Mugenyi yabaanukudde nti bye baabadde bamutegeeza byabadde bingi ng'ate bisukka ku buyinza bw'alina, kwe kuddamu okubajuliza ensonga bazitwale ewa Ochola abawe eky'enkomeredde.

Baamulemeddeko naye n'abategeeza nti ensonga zaabwe mpanvu ayinza obutabayamba kyokka n'abawa amagezi okusooka okusisinkana Ochola nga tebannateeka ssente ndala mu bivvulu ebyo.

Kino baakitaputiddewo ng'okuyimiriza ebivvulu naddala ebiriyo wiiki eno. Wakati mu kusoberwa baagenze okulaba nga Sarah Nassuuna agwa mu ntebe eya bbulu mwe yabadde atudde n'azirika! Yabimbye ejjovu ne batandika okumuwujja.

Ono ye yabadde ategese ekivvulu ekyabadde kirina okubeerawo eggulo ku Lwokusatu e Nakawuka ku Kisaawe.

Abaserikale ba Poliisi n'abantu abazze ne Nassuuna okuli ne Bobi Wine baamusitulidde mu ntebe okumutuusa ku mmotoka eyamututte mu ddwaaliro.

Baamutwalidde mu mmotoka eya buyonjo nga ku kitebe kya poliisi tewali "Ambyulensi" yonna mwe bayinza kuddusiza mulwadde mu ddwaaliro.

Ebivvulu ebyasaziddwaamu bisukka mu 40 era kuliko ekyabadde eky'okubeera ku St. Joseph Church Mpigi kya Leero, eky'e Mityana ekibadde eky'okubeerawo ku Lwomukaaga n'eky'e Masaka ekibadde eky'okubeerawo ku Ssande eno.

Ebivvulu ebirala kuliko eky'e Ggaba, Kavumba, Kyegegwa, Kagadi, Kasese, Fort Portal, Mbarara, Bundibugyo ne Kassanda wadde ng'omutegesi waabyo Emmanuel Sserugo akyalwana okulaba nga poliisi ebikkiriza bibeerewo.

Poliisi yasoose kusazaamu kivvvulu kya Bobi ekyabadde kitegekeddwa e Gulu ku Ssande ewedde.

Bobi Wine yategeezezza nti baatuukirizza ebisaanyizo byonna ebyetaagisa kyokka yeewuunya okubeera nga poliisi esazaamu ebivvulu byabwe.

Yayongeddeko nti abategesi b'ebivvulu bantu abagondera amateeka tebamanyi poliisi ky'ebalanga okugenda ng'esazaamu ebivvulu bye bategese mu kiseera ky'ennaku enkulu olwokuba birimu Bobi Wine.

Mu October, Bibo Wine yali mu kakuubagano ne poliisi ku kivvulu kya Kyarenga kye yali ategese e Namboole ne kigaanibwayo, ne bakitwala e Busaabala ku bbiici ye eya One Love omwezi oguwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...