TOP

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono

Added 6th December 2018

Bannayuganda bagenda kuttunka n’Abasouth Africa mu mpaka z’okwolesa emisono.

 Abamu ku bantu abazze okwetaba mu mpaka

Abamu ku bantu abazze okwetaba mu mpaka

Enkya (Lwakutano) kigenda kutokota si kisaanikire ku Serena Hotel Bannayuganda nga battunka n'Abasauth Afirika  ku ntujjo y'okwolesa emisono egiri ku mulembe mu mpaka z'ebyemisono ezitumiddwa Abryanz style and fashion awards'

Ng'ogyeko omukolo gw'okukwasa abawaguzi mu mitendera egisoba mu 13 egivuganyizibwako

omuli; omuyimbi omukyala n'omusajja abasinga okwesala emisono, basereebu abasinga okwambala, vidiyo y'oluyimba esinga okuggyayo eby'emisono, abasinga okukuba ebifaananyi by'emisono, ba dizayina abasinga okukola emisono egy'akabi, abatandisi ba bizinensi z'ebyemisono, moddo asinga, n'abalala engule ze bwe,

Omutegesi w'empaka zino, Brian Ahumuza ategezezza nga bwe wategekeddwawo n'etujjo y'okwolesa emisono omuli n'obugoye bu sonsomola.

 ai tafo ngatuuka ku kissawe e tebe Mai Atafo ng'atuuka ku kissawe e Ntebe

Mu kanyomero kano obwedda k'ayogerako nga akanyuvu era akasuubirwa okukubya abalabi enduulu,

Ba dizayina okuva mu Bannayuganda bagenda kuba bavuganya n'abalala abavudde ebweru w'eggwanga okuli n'abavudde e South Africa basatu.

Buli omu bagenda ku muwa omukisa okwambaza ba moddo abawala ababalagavu n'abavubuka abamanyi engoye z'akola olwo omu kw'omu balinye ku siteegi mu mbeera ey'okwolesa.

Mu kanyomero kano Uganda ekikiriddwa  mwana muwala Anita Beryl owa BERYL Qouture ne Buyi Philip owa Kkoolo.

Abavudde ebweru kuliko; Laduma Ngxokolo owa MaXhosa ne David Tlale okuva e South Africa ssako Alex Alecool owa Alecool Clothing Munnayuganda abeera mu Bungereza

Mu bamaze okutuuka mu ggwanga mwe muli ne ba MC b'omukolo okuli; Anita Nderu, Mai Atafo ne Tracy Wanjiru

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...