TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusawo asambye omwana wange ali mu leeba bbebi n'afa

Omusawo asambye omwana wange ali mu leeba bbebi n'afa

Added 7th December 2018

Omusawo asambye omwana wange asulirira okuzaala nga mmulaba era ebyavudde mu kino omwana eyazaaliddwa teyalutonze kati abasawo bantegeeza nti baamuzadde akooye nti olwatuuse ku nsi n’afa.

 Nambajje ng’ali ku kitanda mu ddwaaliro e Mityana.

Nambajje ng’ali ku kitanda mu ddwaaliro e Mityana.

Specioza Nanyanzi nnyina wa Betty Nambajje 19, ababeera ku kyalo Musaba mu ggombolola y'e Myanzi mu disitulikiti y'e Kassanda y'alumiriza omusawo mu ddwaaliro ekkulu e Mityana okusamba muwala we eyabadde agenze mu ddwaaliro ky'agamba nti kye kyavuddeko bbebi okufa nga yaakazaalibwa.

Ebyabaddewo abinyumya bwati; Twatuuka ku ddwaaliro lya Mityana General Referal Hospital ku ssaawa 3:00 ez'oku makya ku Lwokusatu.

Omulwadde yayingira leeba abasawo abaaliwo ne bamugamba nti alindeko omusawo omukulu ajja okubalaba ne balwadde banne asooke abeekebejje amanye abanaalongoosebwa n'abo abalina okuzaala era oluvannyuma abanaalongoosebwa baayawulwamu omwana owange nassibwa mu balwadde abanaasobola okuzaala.

Ku Lwokusatu nga November 21, twasiibawo ne muwala wange ku ddwaaliro nga tulindirira oky'okuzaala obulungi naye mu kiro ku ssaawa nga 7:00 yafuna ebisa.

Yeenyoola enfunda eziwera wansi ku seminti mu waadi wakati nga bw'asinda.

Eky'okukola kyambula naye nga nnina essuubi nti essaawa yonna yali asumulukuka.

Mu ddakiika ntono, omusawo gwe nneetegereza obulungi yajja omwana wange we yali yeenyoolera ng'ayambadde gaamubbuutusi n'amusamba mu bbunwe omulwadde kye yava agwa wansi.

Okumusamba yasooka kubuuza nti "ggwe nnyabo wano we weenyoolera we wali ebitanda? Ebitanda tobiraba, ekyaddirira n'amusamba.

Nasitula muwala wange ne mmutwala ku kitanda abasawo kye baava bajja nga basatu ne bangobawo nti nsooke nfulume waadi.

Mba nninako we nnindidde bampite hhenda okuwulira nga bampita nti "Ggwe nnyabo nnannyini mulwadde ono yitawo omulwadde wo agudde wansi, olwo yali avudde ku kitanda n'agwa wansi ebigwo ebiwera.

Engeri gye baali bangobawo nali mmubalekedde bamujjanjabe naye nga nkikola okubalaga nti kye baali bakoze okungoba ku mulwadde ali mu mbeera embi kyali kikyamu.

Namuzza ku kitanda kye naye ng'alaajana kimu nti ‘nfa obulumi, sikyawulira mwana mu lubuto.

Ye omusawo eyasamba omwana wange yunifoomu yali agikyusizza amangu ago n'assaamu eya langi ya kiragala naye nze yali takyasobola kumbuzaabuza kubanga nali mmwekkaanyizza mu maaso.

Ku Lwokuna ku makya abasawo baanona omulwadde wange n'assibwako eccupa z'amazzi era wayita eddakiika ntono n'alongoosebwa ng'alemeddwa okusindika omwana naye ebyembi omwana yaggyibwayo munda nga mukoowu abasawo ne bamumpa naye ng'atokota ekifuba.

Namuddusa ew'omusawo akola ku nsonga z'abaana mu ddwaaliro lye limu n'amussaako omukka nga wendi awo olwo omwana n'atandika okusesema omusaayi, kye yava amussa akapiira mu nnyindo okumusikamu omusaayi. Okussiza ku mukka yakumalako ennaku ssatu n'afa.

 bamu ku bali ku kakiiko akakulira eddwaaliro lye ityana abanoonyereza akati ye sentebe waabwe xperito alyango Abamu ku bali ku kakiiko akakulira eddwaaliro ly'e Mityana abanoonyereza. Wakati ye Ssentebe waabwe Experito Kalyango.

 

Muwala wange yassibwamu akapiira. Ekitundu we yalongoosebwa ku bukyala si ky'ekifo we yali ateekeddwa okuyisa omwana ng'abakyala abalala abalongoosebwa, naye bwe nagezaako okubuuza abasawo bantegeeza nti ekyali kisse muzzukulu wange yali azaaliddwa ng'akooye ne bansuubiza okusigala nga bajjanjaba omulwadde Nambajje asobole okuwona.

Omukulu w'eddwaaliro Vincent Kawooya yampita mu bwangu ddala ng'omwana yaakafa n'anziza mu kasenge n'ambuuza nti ‘naye wamma nnyabo ggwe olowooza kiki ekyasse muzzukulu wo, namuddamu kimu nti mulimu gwammwe okunoonyereza naye nga tannazaala omusawo yamusambye n'antegeeza nti baali baakwongera okunoonyereza.

Omusasi yatuukiridde akulira eddwaaliro lino, Medical Supretendant, Dr.Vincent Kawooya era yamusanze yaakava mu lukiiko lwe yeetabyemu n'akakiiko akapya akaalondeddwa okuddukanya eddwaaliro.

Mu kafubo ke baabaddemu ne ssentebe w'akakiiko omulonde Experito Kalyango n'abalala ku kakiiko okwabadde Jennifer Nakayondo ne John kabango. Kawooya bwe yabuuziddwa ku nsonga ez'omulwadde eyasambiddwa omusawo, omusasi yamukwasizza ssentebe w'akakiiko y'aba annyonnyola kyokka era bombi ssentebe n'akulira eddwaaliro baasoose kwevumba kafubo ka babiri.

Experito Musisi Sentebe w'olukiiko olukulira eddwaaliro ekkulu ery'e Mityana ku nsonga y'okusamba omulwadde yayogedde bwati: "Akakiiko okusituka okujja ku ddwaaliro nasoose kuwulira luvuuvuumo mu bantu nti waliwo omusawo mu ddwaaliro lyaffe eyakoze bwati ne bwati, (kye yakoze yabadde takyogera) kwe kusitukiramu ne tujja tulabe ogubadde.

Twasoose kutuula ne maama w'omulwadde n'omulwadde ne babaako bye batunnyonnyola.

Oluvannyuma twasazeewo okuyita abasawo bonna abakolera mu ddwaaliro lino ne twogeramu nabo era ne twongera okubabangula ku ngeri gye balina okweyisaamu n'abalwadde.

Ffe ng'akakiiko tuvumirira ekikolwa eky'obulabe kyonna ekiyinza okutuusibwa ku mulwadde abeera azze okuyambibwa era kaweefube gwe tutandise ow'okunoonyereza ssinga tuzuula nti waliwo omusawo eyakoze ekikolwa eky'ekko ku mulwadde waakubonerezebwa.

Tugenda kutandika emisomo ku mikutu gy'empuliziganya egy'enjawulo twongere okubangula abalwadde baffe engeri gye balina okuganyulwa mu malwaliro ga Gavumenti", ssentebe bwe yategeezezza.

Oluvannyuma lw'ennaku ttaano, ku Lwokubiri omusasi yazzeemu n'akubira ssentebe w'akakiiko ku biki bye bazudde oluvannyuma lw'okutegeeza omusasi waffe nti bajja kumukubira bamutegeeze, n'addamu n'akkaatiriza nti mu wiiki bbiri baakufulumya alipoota ku mbeera y'abalwadde mu ddwaaliro.

Yagasseeko nti, bataddewo enkessi mu ddwaaliro okufuna ekituufu ku mulwadde Nambajje naye n'okutuusa kati tewali musawo yaavuddeyo kulumiriza munne nti aliko omulwadde gwe yakosa.

Omumyuka w'omubaka wa Pulezidenti ayogedde: Isha Ntumwa agamba nti, " Kyannaku abasawo baffe abalina okututaasa mu mbeera enzibu ate okudda ku mulwadde okumutulugunya.

Omusawo atulugunya omulwadde abeera akontana n'amateeka agamufuga era tugenda kwongera okunoonyereza eyakoze ekikolwa ekyo akangavvulwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu