TOP

Abayizi nabo batusuula mu bikemo - Basomesa

Added 7th December 2018

ABASOMESA b'e Makerere ku yunivasite beewozezzaako mu kakiiko ka Palamenti ku bigambibwa nti, bayitiridde okukabassanya abawala ne bagamba nti babasoomooza nga bambala obugoye obukokoonya.

 Ssentebe w'ekibiina ekigatta abasomesa b'e Makerere, Dennis Kamunyu (ku ddyo) mu kakiiko. Ku kkono ye Dr. Geofrey Nuwagaba.

Ssentebe w'ekibiina ekigatta abasomesa b'e Makerere, Dennis Kamunyu (ku ddyo) mu kakiiko. Ku kkono ye Dr. Geofrey Nuwagaba.

Baabadde mu kakiiko ka Palamenti akassibwawo okunoonyereza ku kikabassanya abayizi mu masomero ga pulayimale n'amatendekero aga waggulu nga beewozaako oluvannyuma lw'okuyitibwa akulira akakiiko kano omubaka Robina Rwakoojo beennyonnyoleko.

"Mukoze kinene okwonoonera abawala ebiseera eby'omu maaso nga mubakabassanya abamu ne bafuna embuto ne batamalaako ng'abamu mubasuubiza okubawa obubonero ekintu ekikyamu", Rwakoojo eyabadde omunyikaavu bwe yategeezezza abassomesa bano.

Mu kwanukulu Dennis Kamunyu ssentebe w'ekibiina ekigatta abasomesa b'e Makerere ekya 'Makerere University Academic Association' yagambye nti kituufu waliwo abasomesa abakabassanya abayizi kyokka ate n'abasomesa beemulugunya olw'ennyambala y'abayizi eya kookonyo ereetera abamu okuva mu mbeera.

"Twafunako lipoota okuva mu basomesa bannaffe nga baliko bannaabwe be baawawaabira olw'okukabassanya abawala naye ate waliwo n'abatuleetera abayizi bennyini nga bakema abasomesa", Kamunyu bwe yategeezezza akakiiko.

Wabula yabadde tannamalayo Rwakoojo n'amwambalira nti kyannaku abasomesa bano okukkiriza abawala okwambala enkunamyo ne bamala obudde bwe bandibadde babasomeserezaamu nga batunuulidde bugoye bwabwe.

"Nkakasa muli bazadde, munyumirwa mutya okutunuulira ebisambi by'abaana bano mu kifo ky'okubakomako", Rwakoojo bwe yategeezezza.

Ababaka baasabye amateeka amakakali gakozesebwe abasomesa batwalibwe kkooti ne mu kkomera bannaabwe bafune ekyokuyiga.

Baagamba nti ettendekero nga lyo terinnabaga tteeka lyonna ku nnyambala y'abayizi era bangi bava awaka mu nkunamyo.

Omu ku basomesa abakyala eyabadde ku ttiimu eno Janet Kasule Nabalika yakakasizza ng'abamu ku basomesa abanafu b'emitima abatendewalirwa olw'ennyambala y'abayizi ate abalina emitima emigumu ne baguma.

Ababaka era beemulugunyizza olw'omuwendo gw'abayizi abatamaliriza misomo mu ttendekero lya Makerere olw'abasomesa okubasuula olw'okugaana okwegatta nabo.

Kino abasomesa baakiwakanyizza nga bagamba nti, abayizi abagwa mu kiti kino baweebwa obudde obulala ne basobola okumalako ate abalala balemererwa lwa bisale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...