TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakozi ba Bbanka Enkulu beeguza emigabo mu Global Trust Bank

Abakozi ba Bbanka Enkulu beeguza emigabo mu Global Trust Bank

Added 9th December 2018

Abakozi ba Bbanka Enkulu beeguza emigabo mu Global Trust Bank

 Justine Bagyenda

Justine Bagyenda

EBIPYA ebyongedde okuzuulwa akakiiko akanoonyereza ku bbanka ezaggalwa, biraga nti abakozi ba Bbanka Enkulu balina emigabo mu bbanka ya dfcu gye baaguza Global Trust Bank ne Crane Bank Ltd. Kino kyazuuliddwa akakiiko akavunaanyizibwa okulondoola ebitongole bya Gavumenti aka COSASE ku Lwokutaano.

Michael Tusiime (Mbarara Munisipaali) yategeezezza ababaka nga bwe yabadde afunye obukakafu nti abakozi ba Bbanka Enkulu balina emigabo mu bbanka ya dfcu. Yalaze nti SACCO y'abakozi eyitibwa 'Bank of Uganda Staff Beneficiaries Scheme' yagula emigabo mu dfcu era ng'eyinza okuba y'ensonga lwaki baagiguza bbanka ya Global Trust Bank nga tebasoose kulanga. Kino kibeera kitegeeza nti, abakozi ba Bbanka Enkulu abalina okulondoola emirimu gya bbanka endala ate be beeguza bbanka ya Global Trust.

Kino aba Bbanka Enkulu baakikkirizza nti ddala kituufu, wabula nga tebaabakkirizza kwewozaako. Tumusiime era yagambye nti yabadde alina bwino alaga nti dayirekita ku lukiiko olufuzi olwa Bbanka Enkulu, Willian Kalema yali dayirekita mu bbanka ya dfcu we yagulira bbanka ya Global.

Ababaka era baayongedde okukitegeera nti omulimu gw'enteeseganya wakati wa Bbanka Enkulu ne bbanka ya dfcu mu kugula Global Trust Bank gwetabwamu abantu ba lubatu, era ng'enteeseganya zino ne Gavana wa Bbanka yennyini teyazimanyaako. Justine Bagyenda eyali akulira okulondoola emirimu gya bbanka eyakuliramu enteeseganya yagambye nti, abakulira ebitongole bya Bbanka bangi baazirimu, wadde nga yabadde takyalina linnya ly'ajjukirako n'erimu.

Abamu ku bantu be yasooka okwogera mu kakiiko nti beetaba mu nteeseganya kwaliko; Sofia Kironde. Kyokka ono bwe yazze mu kakiiko yeegaanye eby'okwetaba mu nteeseganya n'agamba nti yali ku ddaala lya wansi nnyo nga tasobola kwetaba mu nkiiko za kika ekyo.

Wadde nga Bagyenda alemerako nti enteeseganya abakulu bonna mu Bbanka baazimanya, kyokka bwe baamubuuzizza bye baateesanga ng'ayanjala ngalo. Ben Ssekabira omukungu wa Bbanka Enkulu naye eyeetaba mu nteeseganya yagambye nti ky'ajjukira yali ne mukama we Justine Bagyenda. Yagambye nti mu nkola ya Bbanka tebatera kuwandiika bye bateesa babikwata mu mutwe!

Abdu Katuntu (Bugweri) ssentebe wa kakiiko yalabudde abakulira Bbanka Enkulu okukomya okuzannyisa emirimu gyabwe. "Mulina okukimanya nti ofiisi gye mulimu ya Bannayuganda era kyewuunyisa okumala gakola bintu nga bwe mwagala". Palamenti eri mu kubuuliriza ku mivuyo egyakolebwa Bbanka Enkulu mu kuggala bbanka okuli; Teefe Bank (1993), International Credit Bank Ltd (1998), Greenland Bank (1999), The Co-operative Bank (1999), National Bank of Commerce (2012), Global Trust Bank (2014) ne Crane Bank Ltd.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...