TOP

Abakolera ku bizimbe baagala Museveni abataase

Added 10th December 2018

ABASUUBUZI abakolera ku bizimbe ebikaayanirwa balinze kiddako oluvannyuma lwa Muhangi abadde yabyeddiza okuziikibwa.

 Embeera eri ku bizimbe ekya Horizone ne Bazanya n’Engo mu kiseera kino.

Embeera eri ku bizimbe ekya Horizone ne Bazanya n’Engo mu kiseera kino.

Bagamba nti aba famire baabategeeza nti balinde okuziika kuggwe ate n'oludda lwa Drake Lubega ne Mansoor Matovu Yanga nalwo ne lubategeeza nti basooke bakungubagire musuubuzi munnaabwe Charles Muhangi nga bwe balinda ekinaatuukibwako.

Muhangi abadde yeddiza ebizimbe ebibiri Qualicell Bus Terminal kye yabadde atuumye Horizon City ne Nabukeera kye yabadde yatuumye Bazannya n'Engo kyokka Drake ne Yanga ne bakiwakanya era okusika omuguwa kwavaako abagagga okuggala akeedi zaabwe endala, emirimu ne gisannyalala mu kibuga okumala olunaku lulamba.

Abasuubuzi basabye Pulezidenti Museveni eyali asuubizza okugonjoola ensonga mu bwangu bwe yasisinkana abagagga bonna abakaayana omwezi oguwedde.

Baasabye Pulezidenti ayambe okusalawo eggoye kubanga abasuubuzi boolekedde okufiirizibwa kubanga abamu kati basasula emirundi ebiri okwewala okugwa mu buzibu ng'omugagga gwe babadde batasasula y'awangudde olutalo.

Farouk Ssentamu omusuubuzi w'engoye ku Horizon City (ekyali ekya Drake Lubega) yategeezezza nti November abasuubuzi abamu baamuwa Muhangi ate December ne bamuwa Drake nga basuubira nti December w'anaatuukira nga Drake amaze okweddiza ekizimbe kyokka ate waliwo abamu ng'emyezi gyombi baagiwa Muhangi era kati batambulira mu zzaala.

Abbey Kiwanuka omusuubuzi we ng'atto yategeezezza nti akaseera katono Muhangi k'abaddi amaze nga ye Landiroodi waabwe babadde batandise okulaba enkyukakyuka ey'omuggundu.

Yagambye nti abadde musajja awuliriza era omuntu gwasobola okuteeseganya naye okwawukanako n'abagagga abalala.

Abasuubuzi b'oku Horizon eyali Nabukera bo baategeezezza nti beetegefu okukolagana n'omuntu yenna famire ya Muhangi gw'enaabalaga wabula baalabudde nti bwe wanaabawo omuntu yenna abataataagaanya baakwekubira omulanga mu kkooti singa Gavumenti enaalemwa okubayamba.

Baagambye nti Pulezidenti ky'anaaba asazeewo kye bagenda okusinga okwesiga kubanga kijja kuba kya nkomeredde kubanga emyaka 14 kkooti zibadde ziremeddwa okusalawo eggoye.

Hajji Muhammad Katanyoleka ssentebe w'ekibiina ekigatta abapangisa ekya Uganda Tenants Needy and Squatters' Association Ltd (UTENSA), yategeezezza nti ku Lwomukaaga baawandiikidde abapangisa ku bizimbe bino nga babalagira okuyimiriza okusasula ssente z'okwewandiisa n'ezoobupangisa okutuusa nga Gavumenti evuddeyo n'ebalaga omuntu omutuufu gwe balina okusasula.

Yagambye nti okusalawo baakukoze nga basinziira ku bbaluwa eyawandiikibwa omukungu mu ofiisi ya ssaabawolereza wa Gavumenti eyawandiikibwa nga November 6, 2018 ng'esazaamu ekiragiro ekyasooka ekyawa Muhangi ebizimbe bino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...