TOP

Bobi Wine akukkulumidde Poliisi y'e Kayunga

Added 10th December 2018

OMUBAKA Robert Kyagulanyi amanyidwa nga Bobi Wine ayombedde e Kayunga olwa kye yayise effujjo lya poliisi okumuwendulira abayaaye ne baggya omukka mu mupiira gw'emmmotoka ye n'ekigendererwa eky'okumulemesa okutalaaga Kayunga.

Bamakanika nga bazzaamu omukka mu mmotoka ya Bobi Wine. Mu katono ng'ayogerako eri abavubuka

Bamakanika nga bazzaamu omukka mu mmotoka ya Bobi Wine. Mu katono ng'ayogerako eri abavubuka

Poliisi yakubye ne ttiyaggaasi ku Klezia e Kangulimira okugumbulula abawagizi ba Bobi Wine ow'ekosinde kya People Power wamu ne be yazze nabo ku Klezia.

Bobi wine emmotoka ye yakyamiziddwa ku Shell mu tawuni y'e Kangulumira okugikyusa omupiira nga poliisi bw'ekuba amasasi ne ttiya gaasi okugumbulula abawagizi be abaabadde bagiwerekereza amayinja.

Wabula Robert Kasule eyakanise omupiira gw'emmotoka ya Bobi Wine yategeezezza Bukedde nti abantu baagyerippyeko nga bangi ne baweta akatima ne kayisa omukka.

Okubaka Kyagulanyi yayitiddwa ku Klezia e Kangulumira Bwanamukulu Rev. Fr. Maurice Kigoye okuba omigenyi omukulu ku lunaku abavubuka b'ekigo kino kwebajagulizza olunaku lwabwe.

Poliisi yakedde kuyungula abawanvu n'abampi nga bakutte emmundu n'emmotoka za ttiya gaasi n'eb'ebayiwa ku Klezia ne mu tawuni e Kangilumira.

Wadde poliisi yakedde era nga obwedda ewamba obukofiira obumyufu Bobi bw'atuuse mmisa agisanze wakati mu muwa ebirabo n'esooka eyimirizibwa era awo ebintu we biyandikidde okugotaana nga abawagizi Bobi b'azze nabo baleekanira waggulu era okukakkana nga yakomye awo Fr. Ignatius Kateregga eyabadde akulembedde mmisa omukisa ogusembayo teyagugabye.

Fr. Kateregga yakuutidde abantu okwagaliza bannabwe kubanga bw'oyagaliza naawe ofuna.

Yagambye nti abavubuka bafube okwagala bannaffe tukozese obuvubuka okuleeta enkyuka mu bulamu bwaffe.

Akuutidde abantu okilongoosa enneyisa kubanga Obwakabaka bwa Katonda busembedde.

Bwanamukulu w'e kigo ky'e Kangulumira Rev. Fr. Kigoye afubye okukakkanya abavubuka nga tebawuliriza n'akiikira ensingo abazze ku mukolo okutabula.

Poliisi eremesezza Kyagulanyi okulambula ebitundu ebirala era ekubye ttiya gaasi n'abasirikale n'ababalagala era balabiddwako nga banaaba mu maaso.

Mu mmisa Kyagulanyi akuutidde abavubuka okweyambisa emyaka gy'obuvubuka bakole ebigasa ate bakuume okwagalana n'okusikiriza abalala okwegatta ku kisinde kya people power ate bakikole mu mukwano.

Oluvanyuma nga ali mu mmotoka ye weggwereddemu omukka avumiridde poliisi olw'okukozesa effujjo n'ekuba abantu ttiya gaasi.

Agambye nti poliisi yayungudde abasirikale nga eringa egenda mu lutalo.

Oluvanyuma kabangali ya poliisi yamukulembedde n'endala nga zimuvaako emabenga ne bamuwerekera ppaka nga abuuse olutindo lwa ssezibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...