TOP

'Bannayuganda munyiikire okugaba omusaayi'

Added 10th December 2018

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwongera amaanyi mu kugaba omusaayi naddala mu biseera bino ng’abaana b’amasomero bagenze mu luwummula oluwanvu.

  Jeniffer Draleru  omusawo mu kitongole ekikuŋŋaanya omusaayi mu ggwanga ekya Uganda Blood Transfusion Sevices ng'aggya omusaayi ku Isaac Ssemakadde, akulira ekitongole kya Center for Legal Aid.

Jeniffer Draleru omusawo mu kitongole ekikuŋŋaanya omusaayi mu ggwanga ekya Uganda Blood Transfusion Sevices ng'aggya omusaayi ku Isaac Ssemakadde, akulira ekitongole kya Center for Legal Aid.

Bya EMMANUEL SSEKAGGO NE MAHAD WAMALA

Bino byogeddwa  Jenipher Draleru  omusawo mu kitongole ekikuŋŋaanya omusaayi mu ggwanga, ekya Uganda Blood Transfusion Sevices   ab'ekitongole kya  Center for Legal Aid  nga bakulembeddwamu   akikulira munnamateeka Isaac Ssemakadde bwe babadde bagenze okugaba omusaayi  e Nakasero ku Blood bank.

Draleru yagambye nti  abaana b'amasomero be basinga okugaba omusayi mu ggwanga wabula nga bwebaabera mu luwummula eggwanga ligwaamu ebbula y'omusayi mu malwalwiro olwo abantu abagwetaaga bebabonabona olusi ekibaviiramu n'okufa.

Yayongeddeko nti ennaku zino  enkulu mutera okubaamu obubenje bungi ekiviirako abantu okwetaaga omusayi  mu  bungi bw'atyo n'asaba bannayuganda okusitukiramu okugaba omusayi basobole okuziba ebbanga erirekeddwaawo abaana b'amasomero abagenze mu luwummula.

Ye akulira ekitongole kya Center for Legal Aid Isaac Ssemakadde yagambye nti olw'obwetaavu  bw'omusayi obuliwo mu ggwanga yasaazeewo n'akunga abantu bonna b'ayabadde ayambako mu kuwoza emisango bajje bagabe omusayi okusobola okutaasa obulamu bw'abantu.

Ssemakadde yagambye nti ekitongole kyakulembera kizze kiyamba abantu bangi abenjawulo nga kyebabadde tebannaba kwekugaba omusaayi  ogwetaagibwa ensi yonna wano wasinzidde nakubiriza abazadde okukozesa omukisa guno ogw'oluwummula olunene nti basobola okujja n'abaana baabwe nebagaba omusaayi okusobola okutaasa bannayuganda.

 

Ye akulira abakulembeze ba Jobless brotherhood Augustine Ojobile ,yagambye nti baasazeewo okuyingira omwaka omujja nga bayamba abantu abenjawulo nga bayita mu kugaba omusaayi.

Mu bantu abamu abaagabye omusayi be bayizi okuva ku ssetendekero wa Makerere, abaali abakozi ba Crane Bank n'abantu abalala nga be bamu kubaganyuddwa mu kitongole kya Center for Legal Aid  era nga baasazeewo okudizza eggwanga nga bagaba omusaayi okusobola okutaasa obulamu bw'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...