TOP

Poliisi ekubaganye n'aba takisi mu Kampala

Added 10th December 2018

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa mu ddwaaliro ng’atonnya musaayi.

 Abasirikale ba KCCA nga bakutte omu ku bagambibwa okukola effujjo bwe babadde bagoba takisi ezitikkira ku Shoprite.

Abasirikale ba KCCA nga bakutte omu ku bagambibwa okukola effujjo bwe babadde bagoba takisi ezitikkira ku Shoprite.

POLIISI ekubye omukka ogubalagala okugumbulula baddereeva ba takisi ezitikkira ku luguudo lwa  Ben Kiwanuka okuva ku ssundiro ly'amafuta erya Shell okutuuka ku Shoprite ababadde bagezaako okulemesa aba KCCA okubagoba.

Bino byabaddewo ku Mmande abaserikale ba KCCA nga bawerekerwako poliisi ekkakkanya obujagalalo bwe baagenze ku Shoprite okugoba takisi ezittikira mu kifo kino mu kaweefube w'okutereeza enkola y'emirimu mu kibuga  wabula baddereeva ne bava mu mbeera ne bagezaako okubalwanyisa. Bwe baatuuse ku Shoprite aba takisi beekunganyizza ne batandika okulwanagana nabo saako okukasuka amayinja olwo poliisi n'ebakyukira n'ebakuba omukka ogubalagala ne babuna emiwabo.

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja  era ono yatwaliddwa mu ddwaaliro ng'atonnya musaayi.

Baddereeva ba takisi bazzeemu okwekungaanya baddemu balumbe aba KCCA wabula bataano ne bakwatibwa poliisi n'ebalinnyisa ku kabangali ne babatwala ku City Hall ne takisi ezimu nzo ne zitwalibwa.

Amyuka ssentebe w'ekibiina kya KOTSA, Rashid Ssekindi yagambye nti ekikwekweto ekyakoleddwa KCCA tekyabaddemu makulu kuba baalonzeemu ekitundu kimu okugobamu takisi ne baleka ebitundu ebirala nga kiraga nti ezikolera ku Shoprite waliwo eyabawendudde okuzigoba.

"Twebuuza lwaki KCCA yayise ku nguudo endala zonna okuli takisi ezitikkira ku mabbali g'enguudo n'ejja wansi ku Shoprite awatali buzibu bwonna kiraga nti waliwo kyekubiira mu ngeri KCCA gy'ekolamu emirimu," Ssekindi bwe yagambye.

Yagambye nti KCCA singa yabadde eyagala okukola ekikwekweto kino yandibadde esooka n'etuukirira abakulembeze mu mulimu gwa takisi ne boogera ku ngeri y'okutereezaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...