TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema ne bamutta n'omwana

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema ne bamutta n'omwana

Added 11th December 2018

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema ne bamutta n'omwana

ABATEMU bateeze omukazi n'omwana we ne babatemaatema ebijambiya ne babatta. Abatuuze we baatuukidde, ng'omwana yafudde dda. Baabadde bakyekebejja omulambo gw'omwana ne bawulira ekiyiriitira mu kasiko, okwetegereza nga ye nnyina eyabadde asigaddeko ekikuba mukono. Baabadde bagezaako okumuyoolayoola okumutwala mu ddwaaliro n'akutuka!

Jackeline Nakawooya 40, ne muwala we Pheibe Nassozi 10, ab'e Katiiti mu ggombolola y'e Kituntu mu Mpigi be battiddwa mu bukambwe era kiteeberezebwa nti n'omusaayi baagulembese kubanga we baasudde emirambo tewaabaddewo musaayi. Kyokka era poliisi eteebereza nti bayinza okuba nga baabattidde mu kifo kirala kubanga gyasangiddwa gyambaziddwa engoye endala.

Abatuuze era bagamba nti essaawa 3:00 ez'ekiro abantu baabadde bakyatambula nga kyandibadde kyangu okuwulira okulaajana.

BAKUTTE MUKAZI MUGGYA Poliisi bwe yamaze okuzuula omulambo, yaleese embwa ezikonga olusu okukkakkana ng'ekutte Fridah Nabukenya ng'ono muggya wa Nakawooya. Nabukenya ye mukyala muto era mu kumukwata baakwatiddeko ne bbaabwe John Ssezooba.

Baakutte ne muliraanwa waabwe Herman Ssozi embwa ya poliisi gwe yaggye mu buliri. Nakawooya baamuteeze ava mu maka ga Ssezooba gye yawasiza omugole Nabukenya. Yabadde agenze okukima omwana Nassozi kubanga Ssezooba yali amututte amukulize ewa mukyala muto kyokka Nakawooya nga takkaanya nakyo.

Abakazi bombi Nakawooya ne Nabukenya, bbaabwe Ssezooba abadde yabazimbira ku kyalo kye kimu wabula nga waliwo akatemerero. Nakawooya omwana baamumuwadde kiro ku Ssande era kigambibwa nti Ssezooba yasoose kumugamba nti omwana tayinza kugenda nga tamaze kulya kyaggulo.

Bwe baamaze okulya ne bessa mu kkubo okudda mu maka ga mukyala mukulu Nakawooya. Ssentebe w'ekyalo kino Francis Ssekandi ategeezezza nti Nakawooya tabadde na mpalana yonna ku kyalo kyokka kibeewuunyisizza okulaba nga Ssezooba ne mukyala muto tebaawulidde nduulu, ate ng'obutemu bwabadde kumpi n'amaka gaabwe.

EMBWA YEEZINZE KU BAKWATIDDWA Embwa yasoose kwezinga ku maka ga Ssozi muliraanwa wa Ssezooba okumpi n'ennyumba ya mukyala muto. Embwa yatuuse n'okuyingira n'etuuka mu kisenge gye yakukunudde Ssozi. Oluvannyuma embwa yagenze ewa Ssezooba era naye n'akwatibwa ne mukyala muto Nabukenya ne batwalibwa ku poliisi e Mpigi.

Ssezooba ye yasoose okulaba omulambo ku makya ga Mmande bwe yabadde akedde okugenda ewa mukyala mukulu nti alabe bwe baasuze. Yakubye enduulu abantu ne bakuhhaana. Nga babatwala ku poliisi, Ssezooba yalaajanye ng'agamba nti babakwatira bwereere tebalina kye bamanyi ku butemu. Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango Andrew Ainembabazi yagambye nti abaakwatiddwa bagenda kubanoonyerezaako okuzuula oba balina akakwate n'obutemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...