TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Chameleone gye yasiiwuuse empisa n'asika ku minisita akazindaalo

Engeri Chameleone gye yasiiwuuse empisa n'asika ku minisita akazindaalo

Added 12th December 2018

Engeri Chameleone gye yasiiwuuse empisa n’asika ku minisita akazindaalo

 Nankabirwa ng’atunuulidde Chameleone mu ngeri y’okumwewuunya.

Nankabirwa ng’atunuulidde Chameleone mu ngeri y’okumwewuunya.

MINISITA Ruth Nankabirwa yabadde anaatera okuggusa poyinti ye, agenda okuwulira ng'akazindaalo kamuvudde mu ngalo. Yatidde n'akatunuulira nga kaggweerayo olwo Chameleone eyakamusiseeko n'asuulamu oluyimba lwa Super Star. Minisita amaaso yagazzizza ku Ssabavvulu Balaam eyamuyise mu kivvulu ate nga ne Balaam eyabadde atidde ennyo nga naye amaaso agatadde ku Chameleone.

Oyo Balaam yagamuggyeko n'agatunuuliza minisita kyokka ng'olabira ddala okwetonda okuteetaagisa kwongerako bigambo birala. Balaam Barugahara eyategese ekivvulu kino yakulembedde minisita ne bava ku siteegi. Yamuwerekedde okutuuka ku baserikale be abaabadde abangi n'alinnya emmotoka n'ava mu kivvulu kya Saba saba ng'anyenya mutwe.

Oyo yabadde Saba saba yennyini era nga ly'erinnya Jose Chameleone lye yatuuma ekivvulu kye ekyabadde e Lugogo Cricket Oval ku Lwokutaano. Saba saba yali mmundu eyagoba eyali Pulezidenti wa Uganda Idd Amin Dada mu 1979.

Chameleone yayimbyemu ‘kayala' ng'enjogera bw'eri akazindaalo ka minisita n'akawa Zigidy eyayimba Eno Mike-eno Mike, bwe yamaze n'akawa Abdul Mulaasi owa Swimming pool olwo abantu kwe kwebuuza ekiddako ng'abayimbi be be baayise abaggwaako beefuze siteegi.

Abantu baatabuddwa ng'abamu bagenda mu maaso na mazina abalala baasigadde bawuniikiridde ku kyakoleddwa ku minisita nga bwe beesooza. Mu kusooka, Chameleone yaduumidde abakubi b'ebivuga bagende mu maaso nga minisita akyayogera ne bagaana ye n'asalawo akyemalire.

Mu kadde we baamusikambuliddeko akazindaalo, minisita yabadde aggulawo Leediyo 4 eya Balaam nga Chameleone aweza emyaka 20 mu kuyimba. "Nasooka kuyita Pulezidenti Museveni eyafuna ebimukutte n'atuweereza minisita kyokka nga ne minisita yennyini nali muyise nga mukwano gwange. "Twakola pulogulaamu ne Chameleone ave ku sitegi ku ssaawa 4:00 ez'ekiro atuwe eddakiika 10 minisita akole egigye aveeko tukube ebiriroliro wabula yabadde yaakamalako eddakiika ssatu zokka ng'ayogera eri abantu nga tewali na muntu yenna ayombye nti aludde ku siteegi, Chameleone gye yafubutuse nga tannebuuzizzaako n'asika akazindaalo saategeddeyo.

Nfunye amasimu g'abantu abanene bangi nga beemulugunya ku Chameleone kye yakoze nga beebuuza ekigendererwa kye oba yabadde ayagala minisita alwane, ayagala kumuswaza, yabadde ayagala kuleeta kavuyo n'ebirala bye bakyebuuza.

YABADDE AMULEETEDDE SSENTE

Minisita yali atuleetedde ssente ezisoba mu bukadde 20 nga kuliko ez'okugula CD ku 5,000,000/- nga n'omukulembeze amuweerezza obubaka bwa 15,000,000/- kyokka zonna yaziddiza eyazimuwa.

Omukyala eyali akutte ssente Mzee Museveni ze yali aweerezza yali ku bbali awo kyokka yazizza buzza mu bbaasa nga kimuyitiriddeko. Ekigendererwa kya Chameleone kyali kya kwagala kutwala ye ne Bobi Wine ng'ekikulu mu kivvulu kye ng'alowooza nti abantu lwe banaamwagala naye n'alaba nga minisita atutte ‘sho' yonna n'amuggyako akazindaalo.

Yakwatibwa n'obuggya ng'alaba nkoze leediyo kubanga ye tagisobola. Ekisaawe ky'abaddemu abantu bangi era bonna abo yatyobodde minisita nga balaba era bw'aba amwetondera, bonna abo balina okukimanya.

Nsaba abayimbi babeere n'empisa kubanga bwe baba beewulira amaanyi ate enkya tebajja kubeera nago ate be ‘bazalawa' be bagabawa. Sisuubira nti ku Chameleone kye yakoze kituweesa kitiibwa ate bwensigala nga mussaamu ssente mba nga nze azimussaamu yeeyise bubi eri abantu. N'olwekyo ng'enda kumutunuulira mwesonyiwe bw'aliddamu empisa tuliddamu okukolagana.

EBIVVULU EBISIGADDEYO;

Ebivvulu bya Chameleone ebisigaddeyo Balaam bye yagula, yagambye nti asigazza by'e Lyantonde ne Mbarara naye ab'ebifo ebyo bajja kutabuka singa Chameleone tayimba ate ng'ebintu byonna byasasulwa n'abakubi b'ebyuma baasasulwa n'abayimbi abagenda okumuwerekera n'olwekyo agenda kusooka abeere naye abikole biggwe amuviire.

Agamba nti empisa za Chameleone zaasiiwuuka nnyo mu kivvulu kubanga yaggyamu n'essaati n'ayimba mu maaso ga maamawe, Prossy Mayanja eyali mu kivvulu ng'ate ekyo mu buwangwa kyandibadde si kituufu.

Agamba nti tayagala kulwanagana na ba byakwerinda olw'empisa embi naye bagenda kutandika okutawaanya abategeka ebivvulu bya Chameleone nga bamanyi agenda kubikoleramu effujjo. Bukedde yanoonyezza Minisita Nankabirwa nga ye nampala w'emirimu gya Gavumenti mu Palamenti wabula omuyambi we n'ategeeza nti alina olukiiko lwe yabaddemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....