TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebizuuliddwa ku maama n'omwana abatiddwa bitiisa

Ebizuuliddwa ku maama n'omwana abatiddwa bitiisa

Added 12th December 2018

Ebizuuliddwa ku maama n'omwana abatiddwa bitiisa

 sezooba eyakwatiddwa.

sezooba eyakwatiddwa.

POLIISI y'e Mpigi ezudde ebidomola ebigambibwa nti mwe baalembekedde omusaayi oluvannyuma lw'okutta omukazi n'omwana we mu butemu obwabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Ssande.

Kino kiddiridde poliisi okugenda mu maka g'abantu abaakwatiddwa ne bagaaza era ne bafunayo ebizibiti bye bagamba nti bigenda kuyambako okuzuula ekituufu. Ssaalongo John Ssezooba yakwatiddwa ne mukyala we Fridah Nabukenya wamu ne muliraanwa waabwe Herman Ssozi 34, nga bateeberezebwa nti balina kye bamanyi ku kuttibwa kwa Jackline Nakawooya n'omwana we Pheibe Nassozi ow'emyaka ekkumi.

Nakawooya y'abadde mukyala wa Ssezooba omukulu era okumutta n'omwana baabadde bava wa mukyala muto, nga Nakawooya akimye muwala we. Baabattidde Katiiti mu ggombolola y'e Kituntu mu Mpigi.

Poliisi yategeezezza nti, baayazizza amaka ga Ssezooba era waasangiddwayo ekidomola ekiriko amatondo g'omusaayi n'obulambe ku mukonda gwakyo kyokka bwe baamubuuzizza ebikikwatako n'akyegaana. Ne mukazi we Nabukenya naye ekidomola yakyegaanye nti si kyabwe.

Mu maka ga Herman Ssozi waasangiddwaayo ekidomola ekifaanagana na kino nga kiriko obulambe bwe bumu ku mukonda ekiteeberezebwa okuba nga bye bimu ku byakozeseddwa okulembeka omusaayi. Ebirala ebisangiddwa mu maka ga Ssezooba kuliko akaleega akasangiddwa okumpi n'oluggya lwe nga kateeberezebwa okubeera ak'omugenzi nga bino poliisi by'esinze okwesibako nga ekunya abakwatiddwa.

Poliisi y'e Mpigi ng'ekulembeddwaamu akulira okunonyereza ku buzzi bw'emisango Andrew Ainembabazi etandise okukunya abaakwatiddwa nga yeesigama ku bujulizi obwazuuliddwa mu nnyumba ya Ssezooba ne mu maka ga Ssozi.

Kiteeberezebwa nti ebidomola bye baakozesa mu kulembeka omusaayi kubanga we baasanze emirambo tewaabaddewo musaayi. Bonna babyegaanye era Ainembabazi n'ategeeza nti poliisi ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza era bwe banaazuula nga waliwo omulala alina akakwate waakukwatibwa avunaanibwe.

Ainembabazi yagambye nti ebidomola okuli omusaayi bagenda kubiweerza e Wandegeya okubyekebejja mu byuma bya Gavumenti (Government Analytical Laboratories) okuzuula oba omusaayi oguliko gukwatagana n'ogw'abagenzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...

Ssentebe Mugabi (wakat)i ng’asala keeki n’abamu ku bannamawulire abasakira Mu Greater Masaka.

Ssentebe w'e Rakai asiibudd...

Ssentebe wa disitulikiti y'e Rakai, Robert Benon Mugabi  asiimye bannamawulire abakolera mu Greater Masaka n'agamba...

▶️ Obubonero bw'alwadde eki...

Obubonero bw'alwadde ekiyongobero Wano mu Buganda abakazi balowoozebwa okubeera abagumu mu buli mbeera, era...

Weetegereze bino ng'onoolunda embuzi.

▶️ OMULIMISA: Engeri gy'oya...

▶️ OMULIMISA: Engeri gy'oyawulamu ebika by'embuzi ez'enjawulo.