TOP

Museveni awadde Ssaabaluuli obukadde 200

Added 12th December 2018

Museveni awadde Ssaabaluuli obukadde 200

 Museveni ng’abuuza Ssaabaluuli.

Museveni ng’abuuza Ssaabaluuli.

PULEZIDENTI Museveni awadde SACCO ya Ssaabaluuli, Ssaalongo Mwogezi Butamanya obukadde 200 ez'okwekulaakulanya n'amuwa ne kapyata y'emmotoka. Ate abavubuka b'omu kitundu kino abawadde obukadde 50 n'asaba abavubi okwewala okuvuba obwennyanja obuto kuba bajja kusaanyaawo ennyanja.

Yabasabye okukoppa abalaalo abakuuma obutiribiri n'okulabirira ennyana ezizaala ne zisobola okwaza ekiraalo ne bagaggawala, nabo bakuume ennyanja nga baleka ebyennyanja okumala emyezi munaana bimale okukula bizaale ennyanja ereme kusaanawo.

Yabadde ku ssomero lya Lwabyata P/S e Nakasongola mu kukuza amatikkira ga Ssaabaluuli Ssaalongo Mwogezi Butamanya ag'omulundi ogwe 14, abakulembeze ne bamubuulira amagye nga bwe gatigomya abantu ku nnyanja nga bali mu kuvuba.

Yabagambye nti bukya amagye gatwalibwa ku nnyanja ebyennyanja ebikulu bitandise okulabika mu butale. Ng'atuuse ku ky'Abaluuli okubeera ng'ettaka kwe bali si lyabwe yagambye nti tayinza kukkiriza mbeera eno era n'asuubizza okwogera n'ab'e Mmengo okulaba ng'abeebibanja tebataataaganyizibwa.

Yalagidde RDC okulondoola ensonga eno n'agattako nti ajja kwogera ne Ssaabalamuzi okulaba ng'omugagga ne bw'afuna ebiragiro bya kkooti tamala gagobaganya ba bibanja. Museveni yategeezezza nti Abaluuli batudde ku bugagga olw'emigga egibeetoolodde omuli Kyoga, Kiyira, Kafu ne Lugogo n'asuubiza okubawagira okusika amazzi bafukirire mu biseera by'ekyeya n'okugezesa ebigimusa ebyazuuliddwa e Tororo basobole okufuna amakungula amalungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...