TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu ensaano okufuna otulo

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu ensaano okufuna otulo

Added 12th December 2018

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu ensaano okufuna otulo

 Abantu nga basoma ku nkola y’Amamera mu musomo gwa ‘The Great Sundowner’.

Abantu nga basoma ku nkola y’Amamera mu musomo gwa ‘The Great Sundowner’.

WIIKI ewedde nakulaga engeri gy'oyinza okukolamu Amamera n'ofuna ssente ate nga ogakoledde waka mu kifo ekifunda. Osobola okukola Amamera n'ofuna emitwalo waakiri 40 omwezi, ekitegeeza nti eyo nnyongereza nnene ku nnyingiza yo ate nga togenda kutawaana na katale kubanga ngagula.

Ekirungi ekigaliko osobola okugakola mu buli nsigo gamba nga kasooli, ebijanjaalo, omuwemba, obulo n'endala. Amamera gwe mutunsi ogusooka okuvaayo mu nsigo y'ekirime era gwe gukola omulandira.

Leero kankulage ku migaso gy'Amamera egy'ebyobulamu nga giva mu nsaano y'Amamera. lAbantu abasumbuyibwa amaaso oluusi nga kiva ku ssukaali oba endya embi, ebinywa ne bikakakanyala oba oluusi ng'omuntu talina kirungo kya vitamiini A ekibaleetera ekifu ku maaso.

Kozesa pawuda w'Amamera ng'oteeka akajiiko kamu ku mazzi agabuguma n'onywa. Omuntu agugumuka ekiro oba atafuna tulo ensaano y'Amamera ekuyamba okukkakkana ne weebaka bulungi ate jjukira ssinga teweebaka bulungi kikuviraako okulwala.

 mamera gebijanjaalo nga bwe gafaanana Amamera g'ebijanjaalo nga bwe gafaanana.

 

Alimu ‘iron' ayamba ku bantu abalwadde banalubiri (sikoseero). Jjukira abalwadde ba sikoseero bafuna obuzibu n'omusaayi wabula Amamera gabayamba okuba n'omusaayi ogumala ne batafuna bulumi naddala mu biseera eby'obutiti.

Gayamba abakyala obutaggwaamu musaayi naddala nga bazaala oba bali mu nsonga. Alimu ekirungo kya vitamiini K, ekiyamba ku bakyala obutavaamu mbuto n'obutalwa mu nsonga. Teeka obujiiko bubiri mu mazzi agabuguma onywe.

Ayamba ‘calcium' obutabeera nnyo mu misuwa n'asigala mu magumba, ssinga abeera mu misuwa aleeta obuyinza mu kawago n'ensigo.

Era ayamba omuntu obutafuna kukakanyala kwa misuwa ekimuyamba okukuuma omutima n'obwongo nga biramu bulungi, kubanga ‘calcium' aba asigadde mu magumba.

Malungi ku bakyala b'embuto anti abayamba obutazaala baana baliko bulemu kubanga galimu ‘folic acid' ow'obutonde omukyala n'azaala omwana ataliiko bulemu okugeza obutazaala mwana aliko kituli ku mutima, omulema n'ebirala.

Eyeesiba olubuto, kozesa Amamera kubanga galimu ebiguwaguwa ebikuyamba okusumulula olubuto ate lutta n'obuwuka obuleeta alusa n'ekiddukano.

Gayamba okwongeza ku buwangaazi bw'omuntu era e Pakistan ne Korea gye bagalya ennyo bawangaala. Kyokka gayamba ne ku balwadde ba siriimu okubazzaamu amaanyi.

Amamera malungi eri abatalya bintu birimu hhano.

Abalina alaje nammwe gabayamba okugeza abalina alaje w'ennyama amata n'ebirala. Gooza omusaayi ne gaggyamu amasavu amabi mu mubiri. Wiiki ejja nja kukulaga engeeri gy'oyinza okukola ehhano okuva mu mamera ga doodo.

Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono