
Abatuuze b’e Lusanja nga bajaganya oluvannyuma lw’omusango gwabwe okusalibwa.
Beeyiye mu bungi ku kkooti okuwulira ensala y'omulamuzi John Eudes Keitirima era olwabategeezezza nti Kiconco yabagoba mu bukyamu ku ttaka, tebaalinze birala baatandikiddewo okukuba enduulu nga bwe bagamba nti: leero Kiconco tukulina.
Baakulembeddwaamu ssentebe w'e Lusanja, Fred Kanyike. Baagambye nti Kiconco alina okubaliyirira ssente ezisoba mu buwumbi 10 olw'ennyumba zaabwe n'ebintu bye yayonoona.
Kkooti okuddamu okuwulira omusango gw'e Lusanja kiddiridde Pulezidenti Museveni n'akakiiko akanoonyereza ku ttaka okuyingira mu nsonga z'ab'e Lusanja ate n'omulamuzi Esther Nasambu eyawa Kiconco ekiwandiiko n'awandiika nga yeetonda olw'okuwa Kiconco ekiragiro nga tasoose kutuuka ku ttaka.
Ensobi ezaakolebwa mu musango gw'e Lusanja
Omulamuzi Keitirima yagambye nti omulamuzi we Nabweru Nasambu eyaguwulira teyalina buyinza.
Yagambye nti okusinziira ku mateeka agafuga abalamuzi ba kkooti ento (Nasambu mw'agwa) tebakkirizibwa kuwulira musango gusussa bukadde 50 ate ettaka ly'e Lusanja Kiconco kwe yagoba abantu yategeeza nti lisussa mu bukadde 200.
Kiconco bwe yali aloopa omusango yaloopa abantu 17 bokka kyokka ekiragiro ekyamuweebwa okumenya amayumba, yakikozesa n'okumenya amayumba g'abantu 500 be yali taloopye mu kkooti.
Omulamuzi Nasambu yalina okusooka okutuuka ku ttaka ky'ataakola. Abantu abaaloopebwa tebaafuna mukisa kwewozaako.
Okusinziira ku bujulizi obuliwo Kiconco yategeeza nti ebiwandiiko ebibayita okwewozaako byaweebwa ssentebe waabwe Henry Sejjemba owa Ssekanyonyi zooni omulamuzi kye yagambye nti kikyamu buli muntu bandibadde bamukwasa ekiwandiiko ekikye mu buntu.
Okusinziira ku bujulizi obuliwo era nga ne looya Luyimbazi Nalukoola awolereza ab'e Lusanja bwe yayanjizza, omulamuzi Keitirima yategeezezza nti ekiragiro omulamuzi Nasambu kye yawa Kiconco okugoba abantu kyali kikola ku ttaka lye Sekanyonyi - Mpererwe block 206 plot 671 so ssi ku ttaka lya Kyadondo Block 198 plot 55 e Lusanja.
Omulamuzi Keitirima yagambye nti tasobola kulagira Kiconco kuliyirira bantu be yagoba ku ttaka wabula n'abawa amagezi nti bwe baba baagala bagende mu kkooti baggule ku Kiconco omusango nga babaliridde ebintu ebyayonoonebwa basabe kkooti abaliyirire.
Yalagidde abantu bonna abaagobwa ku ttaka baddeyo awatali muntu yenna abagobaganya.
Abantu olwawulidde kino ne babuukira waggulu. Ssentebe Kanyike yagambye nti bagenda kutwala ne wannyondo Moses Kirunda mu kkooti kubanga yadde yali akolera ku kiragiro kya Kiconco, yakozesa amaanyi n'obusungu bungi.
Pulezidenti Museveni bwe yalambula ab'e Lusanja abantu baamuloopera nti Salim Saleh y'ali emabega wa Kiconco ekyamuwaliriza okumukubira essimu kyokka Saleh n'abyesammula.