TOP

Mmotoka ya poliisi esse omuntu n'eziba oluguudo

Added 18th December 2018

LOOLE ya poliisi ebadde ku misinde eremeredde omugoba waayo n’eyingirira mmotoka ya buyonjo ey’ekika kya Subaru Forester UAV 906 J n’egitomera n’etta ddereeva waayo n’okulumya omuntu omulala agibaddemu.

 Abantu nga batunuulira kasiringi ya poliisi eyagudde mu luguudo wakati.

Abantu nga batunuulira kasiringi ya poliisi eyagudde mu luguudo wakati.

Poliisi ereese kasiringi yaayo okugiggyawo kyokka mu kugisitula ate nayo n'egwa ekigwo wakati mu luguudo n'eruziba ekyasannyalazza ebyentambula okumalira ddala essaawa nga nnya.

Akabenje kano kaagudde Kitega okumpi n'ekibuga Lugazi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja ku ssaawa 6:30 mu kiro ekyakeesezza Mmande.

Omugenzi Jimmy Alori abadde mukozi wa kkampuni ya SCOUL e Lugazi nga mutuuze w'e Bulyanteete mu Divizoni y'e Kawolo mu Lugazi Municipality mu Disitulikiti y'e Buikwe.

Jimmy yabadde eva ku ludda lw'e Kampala ng'adda Lugazi ng'ate loole ya poliisi UP 2372 eyabadde avugibwa Sgt. Eliot yabadde eva ku ludda lw'e Jinja ng'edda Kampala.

Poliisi yakolaganye ne kkampuni ya SCOUL n'ebaweereza ttulakita eyabayambye okusitulawo Kasiringi kyokka nga nakyo kyatutte ekiseera ekiwerako.

Akulira Poliisi y'ebidduka mu Kitundu kya Ssezibwa, Israel Wambesyo akakasizza akabenje kano n'agamba nti baatandise dda okunoonyereza kwe kaavudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.