TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde yeefuula 'omusambwa' n'afera abakazi Poliisi emuggalidde

Abadde yeefuula 'omusambwa' n'afera abakazi Poliisi emuggalidde

Added 18th December 2018

EKITONGOLE kya Poliisi ya ‘Flying Squad’ kikutte omusajja abadde yeegulidde erinnya ng’afera abakazi n’abaggyako ssente nga yeefuula ‘Omusambwa’

 Godfrey Kato Ssemwanga eyakwatiddwa n'aggalirwa

Godfrey Kato Ssemwanga eyakwatiddwa n'aggalirwa

Bya STUART YIGA

Godfrey Kato Ssemwanga, omutuuze ku kyalo Buloba Kasero, mu disitulikiti y'e Wakiso, ye yakwatiddwa n'aggalirwa ku Poliisi ya CPS, mu Kampala, ng'avunaanibwa kweyita ky'atali n'afera abantu ng'abaggyako ssente mu ngeri y'olukujjukujju.

Ayogerera ekitongole kya Poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire, yategeezezza Bukedde nti, bazze bafuna okwemulugunya okuva mu bantu ab'enjawulo nga balumiriza Ssemwanga ne munne John Kimbugwe, amanyiddwanga, ‘Jjajja Kayonza' okubafera nga befuula ababasawula.

Ssemwanga yategeezezza Poliisi nti, bwe yava ewaabwe e Masaka, yakwatagana ne ‘Jjajja Kayonza' alina essabo e Buloba-Kasero, n'amusomeramu engeri gye bayinza okufunamu ssente nga bayita mukusawula abalwadde n'okubajjanjaba mu ngeri y'ekinnansi.

Ono era yagasseeko nti, yasalawo n'aleka mukaziwe e Masaka n'abaanabe babiri n'asalawo okuyingira omulimu gw'okukola ng'omusambwa okusobola okweyoolera ku ssente ez'obwerere.

"Abalwadde bwe bajja jjajja Kayonza gwe basisinkana emisana wabula webamala okumubuulira ebizibu byabwe ng'abalagira baddeyo oluvannyuma bakomewo obudde nga buzibye asobole okubakolako nti kuba ‘Omusambwa' lwegujja okubaawo, ng'olwo ategeeza nze," Ssemwanga bwe yategeezezza.

Yagaseeko nti, buli mulwadde by'aba amubuulidde nga yakatuuka, olumusiibula ng'abiyitiramu ‘Omusambwagwe' gusobole okubikwata ng'omulwadde bw'aba akomyeewo ku ssaawa endagaane, ‘Omusambwa' guba gusobolera ddala okukyuusakyuusa  amaloboozi nga bwe guddamu ebigambo by'ennyini ebituukira ku bwetaavu bw'omulwadde.

Ssemwanga yategeezezza nti abakazi be basinga okubettanira naddala abo, ababa baagala okufuna obufumbo, okubunyweza, okufuna oluzaalo, okusiraanya bajja baabwe, abaagala okuganja mu bantu, n'okufuna Visa.

"Ebiseera ebisinga abasajja be tufuna baba banonye ddala lya kufuna mirimu oba abakazi be baba beegomba, naye okusingira ddala abakazi be basing okutuwagira," bw'atyo bweyagenze mu maaso n'okunnyonnyola.

POLIISI EGENDA MU SSABO:

Abaserikale b'ekitongole kya ‘Flying Squad' basoose kusuula nkessi ew'omusamize ‘Jjajja Kayonza' nebamanya nga gyaali nebagendayo okubasawula.

Ono bamusanzeeyo era n'abaaniriza oluvannyuma ne bamwangiza ebizibu byaabwe wabula n'abategeeza nti, akola kiro kuba  ‘Omusambwagwe' lwegubaawo, ate nga gw'asinziirako mu buli ky'akola.

Bano abaalabise nga bakkakkamu ebitagambika, baageze essaawa endagaane etuuse nebaddayo ew'Omusamize agambibwa okufera abantu okulaba engeri gy'akikolamu.

Olwatuuseeyo ‘Jjajja Kayonzaa' yabayingizza munda mu Ssabo mwakolera emirimugye, wabula nga bano yasoose  kubayitiramu mu mateeka agafuga abeera agenda okuyingira mu mbuga/ Ssabo, okwabadde obutayingiza ngatto, okwakisa essimu oba ekintu kyonna, wamu n'obutayisa  omukka nga batuuse munda nti kuba ‘Omusambwa bino tegukolagana nabyo gwagala nzikiza yokka!

 ‘OMUSAMBWA' GUKWATIBWA:

Olwatuuse munda mu Ssabo, buli omu yalagiddwa okwanja ekizibukye olwo abaserikale nebasaba okukuzibwa ku mirimu ate abandi nebasaba, obugagga.

Wakati mu kizikiza, ebintu byatandise okukubagana wansi ne waggulu munda mu Ssabo, olwo abaserikale nekabula kata bafubutuke emisinde olw'okutya naye oluvannyuma ‘Jjajja Kayonza' n'abagumya ng'agamba nti, ‘Omusambwa' gwe gwabadde guzze okukola ku byetaago byabwe.

"…Jjajja..jjajja tusanyuse okukulaba obwedda tukulinze ne bazzukulubo wano obakolere ku buzibu bwabwe bwe balina," bw'atyo John Kimbugwe bwe yawuliddwa ng'ayeeyogeza yekka.

Oluvannyuma, ekigambibwa okuba ‘Omusambwa' kyatandise okusinda eno nga bwekikubaganya endege nga  ‘Jjajja' Kayonza' bw'akisaba kikkirize kitunule munsonga z'Akazzukulu.

‘Omusambwa gwasabye enkoko n'embuzi kyokka abazzukulu n'ebategeeza nti baabaddeko na Nkoko, yokka.

Wakati mu kwegayirira, ‘Omusambwa' gwakkirizza okutwala  enkoko,  n'okukola ku byetaago byabwe.

 " Kituufu mulabika ebizibu naye temweyibaala nti bijja kukolebwaako nga temuwaddeyo byetaagisa. Ekisooka buli omu alina okuleeta amagi ga goonya, ag'ennyonyi enyange wamu n'ekikopo ky'amaziga kimu, nsuubira buli omu ampulidde? Oyo yenna awulira nga taasobole bino kubireeta, teekateekawo akasente akawera k'ojja okuleeta nze kennyini mbyefunire….." bwegutyo ‘Omusambwa' bwegugambibwa okuba nga gwategeezezza.

Abaserikale oluvannyuma beeyanjulidde John Kimbugwe akolanga ‘Jjajja Kayonza' era ng'ono n'akataayi teyalinze kusala n'ateekako kakokola tondeka nnyuma.

Ye Ssemwanga, eyabadde yekwese emabega w'olugoye olwabadde lusibiddwa munda mu ssabo nga yeefudde okuba ‘Omusambwa' naye ebintu byamusobedde n'atandika okujugumira ng'eno bw'assiza okumu okumu.

Ono yalabye abaserikale batandise okuwenjula olutimbe lweyabadde yekweseemu, n'ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka nti, "Bassebo nsaba kisonyiwo, eno si yenkola yange era byonna byemuwulidde, temubitwala nti bituufu wabula mbadde neyiiya!"

Ekyaddiridde, baserikale kukwata ‘Musambwa' nebagwolekeza ku Poliisi yoku CPS mu Kampala, era neguggulibwaako emisango okuli ogw'okwefuula kyegutali, okujja ssente ku bantu mungeri y'olukujjukujju, okufera, n'emisango emirala mingi, era nga giri  ku fayiro namba SD:18/30/11/2018.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...