TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasobya ku muyizi avuddeko bahedimasita okukyusibwa

Eyasobya ku muyizi avuddeko bahedimasita okukyusibwa

Added 20th December 2018

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Wakiso, Fredrick Kiyingi Kinobe ategeezezza ng’omusomesa eyasobya ku muyizi bw’atakyalina mulimu okutuusa nga kkooti emaze okusala eky’enkomeredde mu musango ogumuvunaanibwa.

Abazadde nga balumbye akazigo Masaaba kw’abadde asula okumpi n’essomero lya St. Charles Lwanga Kakiri mu Wakiso.

Abazadde nga balumbye akazigo Masaaba kw’abadde asula okumpi n’essomero lya St. Charles Lwanga Kakiri mu Wakiso.

Justus Masaaba Mwiru, eyali akulira essomero lya St. Charles Lwanga Kirugaruga mu ggombolola y'e Kakiri e Wakiso ye yasobya ku muyizi w'ekibiina ekyomusanvu bwe yamutega akakodyo k'okumukamulira obutunda.

"Omusomesa oyo yali akulira essomero lyaffe naye nga tetumanyi buze bwe era oluvannyuma lw'omuzadde w'omuyizi okwekubira enduulu mu boobuyinza, nga ffe abakulira ebyenjigiriza ne tusalawo tubeeko kye tukola era ne tusalawo agira atuula ku katebe nga bwe tulinda kkooti ky'eneesalawo." Kinobe bwe yayongeddeko.

Yategeezezza nti singa kkooti eneemusingisa omusango, tagenda kubaako ssomero ddala ly'asomesaamu e Wakiso wabula bw'asinga omusango, ekitongole ky'ebyenjigiriza e Wakiso kyakulaba ekiddako nga tusinziira kw'ebyo ebinasaalwawo kkooti.

OKUKYUSA ABASOMESA KUTANDISE

Kinobe yayongedde n'ategeeza nti batandise okukola enkyukakyuka mu bakulu b'amasomero oluvannyuma lw'abazadde okuteeka akazito ku bakulira ebyenjigiriza ku ngeri abaana babwe gye basobezebwako abasomesa abaludde mu masomero.

Kinobe yategeezezza Bukedde nti enkyukakyuka zino zigenda kutuusa ku ntandikwa y'olusoma lw'omwaka ogujja n'ategeeza nti olusoma we lunaddiramu ng'okukyusakyusa abasomesa kuwedde.

Yayongeddeko nti, kino teyakikoze yekka ng'akulira ebyenjigiriza wabula yasoose kusisinkana kakiiko akavunaanyizibwa ku masomero ga pulayimale ne babaako ensonga kwe baatuuse okusalawo okukola kino.

Essomero lya St. Charles Lwanga Kirugaruga awaabadde Masaaba eyasobya ku mwana wateereddwaayo Rose Nakimwero eyavudde ku Katuuso P/S n'abalala bangi abakyusiddwa.

Kinobe yategeezezza nti enkyukakyuka zino zigenda kukolerawo awatali kulinda n'asaba abaakyusiddwa okugenda ku masomero gye baatwaliddwa bekenneenye bulungi ebiriyo ng'olusoma olupya terunnatandika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amazaalibwa ga Kabaka ag'em...

Abantu okuva e Bule n'e Bweya beeyiye mu Lubiri e Bulange - Mmengo okwetaba ku mukolo gw'okukuza amazaalibwa ga...

Hudu ng'ayogera eri bannamawulire ku Media Centre.

Abakulembeze abakyeremezza ...

RCC wa Kampala Hudu Hussein asekeredde abakulembeze b'omu butale abaggyibwako kyokka ne basigala nga balwana okubwezza...

Kkwaaya ng'eyimba ennyimba z'Amazuukira.

Bayimbye ennyimba z"Amazuukira

Abakulisitaayo bakubiriziddwa  okudduukurira n'okubeeea obumu n'abayimbi mu Kkanisa mu nkola ey'okubunyisa enjiri.....

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...