TOP

She Cranes ezzeeyo mu World Cup

Added 20th December 2018

OKUBAKA kwongedde okuteeka Uganda ku maapu, olw’obuwanguzi obutuukiddwako mu 2018, naddala ku ddaala ly’ensi yonna. Singa abakulembera omuzannyo guno bakola ku kusoomoozebwa okutonotono kwe bakyalina, ebiseera by’omuzannyo guno eby'omu maaso bijja kuba bitangaavu. BUKEDDE akulaze ebikulu ebibadde mu kubaka.

 Abazannyi ba She Cranes ku kisaawe e Ntebe, bwe baali bava e Zambia gye baayitiramu okuzannya World Cup.

Abazannyi ba She Cranes ku kisaawe e Ntebe, bwe baali bava e Zambia gye baayitiramu okuzannya World Cup.

Commowealth

Mu April, She Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka yeetaba mu mizannyo gya Commonwealth omulundi ogusooka, mu kibuga Gold Coast mu Australia.

Okuyitamu okuzannya mu mizannyo gino Uganda yawangula empaka za 'African Netball Championships mu 2017', ng'ekubye Malawi ekwata ekyomukaaga mu nsi yonna.

Obuwanguzi buno bwagiyamba okulinnya mu nsengeka ya International Netball Federation (INF), ekibiina ekifuga omuzannyo guno mu nsi yonna, ng'eva kifo eky'e 13 n'edda mu kyomusanvu.

Eza Commonwealth zeetabwamu amawanga agali mu bifo omunaana ebisooka mu nsengeka za INF. Uganda yamalira mu kyamukaaga oluvannyuma lw'okukubwa South Afrika (53-42) mu gw'okusalawo akwata ekyokutaano.

Ku mizannyo omukaaga gye yazannya, Uganda yawangulako esatu; (Ug 54-52 Malawi), (Ug 76-40 Wales), (Ug 57-37 Scotland) ate emirala n'ekubwa; (New Zealand 64 -51 Uganda), (Bungereza 55 - 49 Uganda) ne (South Afrika 53-42 Uganda)

Uganda ezzeeyo mu world cup

Mu August, She Cranes yazzeemu okulaga amaanyi, bwe yeddizza obwannantameggwa bw'okubaka mu Afrika ng'ewangudde empaka za 'African Netball Championships 2018'.

Empaka zaategekebwa mu kibuga Lusaka ekya Zambia wakati wa August 14-19, nga zeetabiddwamu amawanga musanvu, era She Cranes yaziwangudde tekubiddwaamu, (Zambia 56-64 Uganda), (Uganda 65-35 Botswana), (Uganda 61-42 Kenya), (Malawi 46-51 Uganda), (Namibia 47-72 Uganda) ne (Uganda 66-51 Zimbabwe).

Empaka zino ze zaakoze ng'ez'okusunsulamu abaneetaba mu World Cup egenda okubeera e Bungereza mu kibuga Liverpool, mu August 2019.

Uganda ne Zimbabwe eyakwata ekyokubiri, zeegatta ku South Afrika ne Malawi, ezaayitamu obutereevu olw'okubeera mu bifo omukaaga ebisooka mu nsengeka za INF.

Omutindo omulungi Uganda gwe yayolesa mu Commonwealth gwaleetera Bungereza okugiyita okuzannyamu egy'omukwano (Vitality Netball Series) mu November ne December. Bungereza ekwata kyakuna mu nsi yonna, ate Uganda kyamusanvu.

Amawanga omukaaga agakulembedde, gatera okutegeka emizannyo gy'omukwano egy'enjawulo ne geezannyamu.

Wadde Uganda yakubiddwa mu mizannyo gyonna esatu, ekya Bungereza okugiyita kiraga nti bakirimaanyi batandise okugiwa ekitiibwa.

OBWA Nnantameggwa bwa yunivasite

Obuwanguzi ttiimu y'eggwanga ey'abayizi ba yunivasite bwe yatuuseeko ng'ewangula empaka za '2018 FISU World University Netball Championships', bwawadde essuubi nti ebiseera bya Uganda mu kubaka bitangaavu.

Ttiimu eno yabaddemu abazannyi ba b'ey'eggwanga ento, 'She Pearls', eyeetaba mu mpaka z'ensi yonna omwaka oguwedde e Botswana.

Empaka zaali ku yunivasie e Makerere, mu September, nga ku fayinolo, Uganda yakubye South Afrika (44-43). Ttiimu endala ezeetaba mu mpaka kuliko; Amerika, Singapore, Sri Lanka, Zimbabwe, Kenya ne South Afrika. Jamaica, Namibia, Botswana ne Australia zaalemererwa.

Empaka zino zaali za mulundi gwakusatu ng'ezaasooka mu 2012 e Cape Town - South Afrika, zaawangulwa Bungereza.

Prisons ebuutikidde NIC

Ttiimu ya Prisons yeddizza ekya liigi y'eggwanga oluvannyuma lw'okukuba KCCA ggoolo 68-44 mu mupiira ogwasembyeyo.

NIC yakuba Prisons mu luzannya olwasooka, ne Prisons n'egikuba mu gw'okuddihhana, era we baazannyidde emipiira egisembayo nga benkanya obubonero.

NIC yali yeetaaga okuwangula ne ggoolo ezisukka mu 110 okweddiza ekikopo, naye tekyasobose.

Prisons ekikopo yakiwangulidde ku njawulo ya ggoolo nga benkanya obubonero 25.

Ekya liigi Prisons yakigasse ku kya kiraabu z'amawanga g'obuvanjuba bwa Afrika (East and Central Africa Netball Championship), kye yawangula mu April ng'era ekubye NIC (39- 38), ku fayinolo e Tanzania.

Eza pulofeesono

Omutindo omulungi kapiteeni, Peace Proscovia gwe yayoleseza mu kiraabu ye eya Loughborough Lightning e Bungereza, gwasikiriza kiraabu ya Sunshine Coast Lightning mu Australia okumukansa.

Eno agenda kusomerayo ne diguli y'obwadokita. Loughborough kati yatutte Mary Nuba abadde mu NIC, era ye muzannyi wa She Cranes owookubiri agenda okuzannya pulofeesono.

Okusoomoozebwa

UNF erina okuzimba abazannyi ba She Cranes abapya, okunoonyeza liigi siponsa, okusikiriza abawagizi mu bisaawe, ssaako okumalawo okusika omuguwa ku nsonga ez'enjawulo. Bino byonna bwe binaakolebwako, omuzannyo gw'okubaka gujja kweyongera okutinta mu ggwanga n'ebweru waalyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...