TOP

Solskjaer asuubizza okuzza ManU engulu

Added 20th December 2018

KIMANNYIDDWA nnyo ku ttiimu okweyazika abazannyi, wabula ManU mu kusoberwa okungi yagenze mu Molde FC ey'e Norway ne yeeyazikayo omutendesi Ole Gunnar Solskjaer.

 Ole Gunnar Solskjaer eyaddidde Mourinho mu bigere

Ole Gunnar Solskjaer eyaddidde Mourinho mu bigere

Ono yali ssita waayo mu myaka gya 1990 nga ye y'asikidde Jose Mourinho eyagobeddwa ku Lwokubiri.

ManU okufuna Solskjaer 45, yasasudde Molde pawundi akakadde kamu n'ekitundu. Naye era asigadde ye mutendesi wa Molde ezannyira mu liigi y'e Norway, kino kiri bwe kityo kubanga mu ManU azze ku bwazike okutuusa May 2019.

"Omukisa nga guzze okutendeka ManU, sirowooza nti waliwo omutendesi ayinza okugugaana era hhenda kufuba okulaba nga ngisitula okugituusa ku ddaala eddala sizoni w'eneggweerako" Solskjaer bwe yagambye.

Bwe yabuuziddwa lwaki tatadde mulimu gwa Molde, yazzeemu nti "Ekirungi liigi yaffe egenda kuddamu ku nkomerero ya March, nja kuba mpumbawumba egya ManU. Wabula nja kusigala nga ngoberera ebigenda mu maaso mu Molde"

ANAASALA MAN U KU KAGUWA?

Abaali bagoberera omupiira mu 1999 tebayinza kwerabira Solskjaer. Era olwa May 26, 1999 lw'asinga okujjukirwa mu ManU bwe baali bazannya fayinolo ya Champions League ne Bayern Camp Nou ekya Barcelona.

Omupiira Bayern yagukulembera 1-0 eyateebwa Mario Basler kyokka ddiifiri owookuna ng'amaze okulaga eddakiika 3 ezaayongerwamu ng'e 90 ziweddeko, ManU yateeba ey'ekyenkanyi.

Ng'ebula obutikitiki 37 omupiira guggwe, Solskjaer n'ateeba ggoolo ey'obuwanguzi.

Engeri gye yataasaamu ManU mu 1999, n'etuuka okuwangula ebikopo bisatu okuli Champions League, FA ne Premier kisuubirwa ne ku luno agenda kugisala ku kaguwa edde emalire mu bifo ebina oba sinakindi okuvuganya ku Premier ne mu Bulaaya.

Solskjaer, eyatuumwa 'Baby Faced Assasin (Bbebi ffeesi omutujju), olw'okuteebanga ggoolo ez'omutawaana, akola bulungi mu Molde kubanga yamalira mu kifo kyakubiri mu liigi yaabwe.

Wabula waliwo abafitina ManU batemye akakule bwe bawulidde omumyuka we, Mike Phelan, abadde akulira okugula abazannyi mu Central Coast Mariners ey'omu Austria nti y'esmbye mu liigi yaayo. Mu mipiira 8 erinamu obubonero bubiri era baajereze nti, "ManU efuuse ssengavuddemungazzeemu."

Abatendesi bano baakuyambibwako Michael Carrick ne Kieran McKenna.

Enkya, Solskjaer asuubirwa okwogera eri bannamawulire nga yeetegekera omupiira ManU gw'egenda okukyalira Cardiff ku Lwomukaaga mu Premier. Solskjaer yatendekako Cardiff wakati wa January ne September 2014.

EBIRAGIRO EBIMUWEEREDDWA

Abakungu ba ManU bawadde Solskjaer, ebiragiro omuli; Okugatta abazannyi amalewo obukuku mu ttiimu.

Abakungu n'abawagizi ba ManU bakkiriza nti singa akasenge katereera ttiimu yaabwe esobola okukola obulungi.

Bongerako nti kino kijja kuzza emitima gy'abawagizi olwo n'enduulu yeeyongere ku kisaawe ManU eryoke efuntule buli ekigisala mu maaso.

Mu kulangirira Solskjaer, akulira emirimu mu ManU, Ed Woodward yagambye nti, "Solskjaer yali ssita waffe amanyi bulungi ennono ya ManU. Omupiira yaguzannya n'akakasa ensi ate mu kugutendeka mmo.

Ebyafaayo bye mu ManU byongera okukakasa nti emuli mu musaayi, tukkiriza nti agenda kukola ebirungi naye okusinga kugatta bazannyi."

MAN CITY ERI KU 'QUARTER'

Mu ngeri y'emu, Man City yafunvubidde okuyitawo okutuuka ku 'quarter' mu mpaka za Carabao Cup, bwe yawangulidde Leicester (3-1) mu peneti.

Baasoose kulemagana (1-1) mu 90. Ate Burton ezannyira mu 'League one' yanduddemu Middlesborough eya Championship ku ggoolo 1-0.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...