TOP

Omwana eyabuze akwasiza taata ne maama

Added 22nd December 2018

Omwana eyabuze akwasiza taata ne maama

EKITONGOLE kya poliisi ekya ‘Flying Squad' kikutte omusajja ne bakyala be babiri oluvannyuma lw'omwana waabwe okuwambibwa ng'amaze emyezi musanvu nga talabikako. Omwana azaalidde abazadde ebizibu ye Kevin Matovu ow'emyaka 4.

MAAMA W'OMWANA Christine Nakaliisa ANNYONNYODDE

"Okuva ku lubuto okutuusa okuluzaala nnali mbeera wa maama wange Dorothy Nakayondo e Mityana era nga yatulabirira kubanga nnali kyansoma ate nga ne taata w'omwana teyali bulungi. Omwana bwe yakula kitaawe Joseph Matovu yatandika okumpeerezaayo ku ssente anti yali afunye omulimu gw'okuvuga bodaboda.

Nzijukira mu May abaana baali banaatera okuddayo ku ssomero n'akubira Matovu essimu ampeereze ssente n'ansaba mumutwalire amulabeko Engeri gye yali yawasa edda omukazi omulala (Mariam Nabutono) nga gw'abeera naye mu maka ge e Kireka - Kasokoso, bwe nnamutwalira omwana namumusanza ku siteegi ya bodaboda e Mutungo mu Kampala, oluvannyuma ne nzirayo e Mityana. Wabula waali waakayitawo ennaku bbiri n'ampeereza obubaka ku ssimu ng'antegeeza nti omwana abuze!

Engeri obudde gye bwali ekiro enkeera nagenda okulaba ekyali kiguddewo. Nga ntuuse mu maka ga Matovu namusanga atabuse ne mukyala we ng'alowooza yali alina ky'amanyi ku by'okubula kw'omwana wange. Nagenda ne Matovu ensonga ne tuzitwala mu kakiiko, oluvannyuma ne tweyongerayo ku poliisi e Kireka ne Kira Divizoni. Mu kiseera kino, ebya muggya wange nabissa ku bbali ne ntandika okubeera naye awaka nga buli ku makya tukeera kunoonya mwana n'okuyisa ebirango ku leediyo ez'enjawulo.

Matovu yagenda mu maaso n'okukyocca mukyala we ekyamuwaliriza okumuviira. Poliisi twagitegeeza ng'avuddewo n'etandika okumunoonya era n'emuzuula e Kasese gy'azaalibwa n'akomezebwawo ku poliisi ya CPS.. Ku lunaku lwe lumu, Matovu baamukwata era bwe nagendayo okumanya ekigguddewo nange ne bannyingiza akaduukulu.

POLIISI Ey imbulA BAMAAMA

Poliisi oluvannyuma lw'okwekenneenya ensonga yatadde maama w'omwana ne muggya we, ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Omusango guli ku fayiro nnamba SD: 04/06/11/2018. Ye taata w'omwana akyali mu kkomera olw'ebigambibwa nti yandiba ng'amanyi ku lukwe lw'okubuzibwawo kwa mutabani we.

BASABA ABAZADDE SSE NTE

Taata w'omwana yasinzidde mu kkomera n'ategeeza nti waliwo omusajja ayitibwa Ssendegeya, eyamukubirako essimu n'amutegeeza nti amanyi eyabuzaawo omwana we. "Neekuba ku Ssendegeya andagirire omwana gy'ali kyokka nga by'anziramu tebitegeerekeka kwe kumwesonyiwa. Yasooka n'ansaba muweereze ssente z'okugulamu amafuta g'okuteeka mu pikipiki kyokka naddamu okumukubira essimu nga teriiko!," Matovu bw'agamba.

POLIISI EBUULIRIZA

Ensonda mu ‘Flying Squad' zaategeezezza nti, taata w'omwana yandiba nga ye yateekawo embeera y'okubula kwa mutabani we asobole okuddamu okuganza maama w'omwana oluvannyuma lw'okukitegeera nti, alina omusajja omulala gwayagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...