
GAVANA wa Bbanka Enkulu, Emmanuel Tumusiime Mutebile akkirizza nga bwe waliwo ensobi ezaakolebwa mu kuggala bbanka z'ebyobusuubuzi n'asuubiza bwe bagenda okuziyigirako batereeze entambula y'emirimu.
Yasinzidde mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa okulondoola emirimu gy'ebitongole bya Gavumenti aka COSASE ng'atangaaza ku buwumbi 478 ze bassa mu Crane Bank. We baagiggalira yali yeetaaga obuwumbi157 okusobola okudda engulu.
Mutebile yagambye nti okuva lwe bajja mu kakiiko bakizudde nga waliwo ebintu bingi ebizze bikolebwa mu nsobi, kyokka n'akakasa nti bingi bye bayize era bagenda kutereeza.
Ababaka baasoose kukiteeka ku bbanka Enkulu nti engeri gye baakwatamu emirimu gya Crane Bank teraga nti baalina ekigendererwa ky'okugiyamba okudda engulu. Ekiruubirirwa kyabwe kyali kimu kya kugiggala na kuddiza bantu ssente ze baali baterese.
Okuva okunoonyereza lwe kwatandika, aba bbanka bazze basanga obuzibu okulaga ebiwandiiko naddala ebikwata ku byobugagga bya bbanka z'ebyobusuubuzi ze bazze baggala. Bbanka ezibuulirizibwako kuliko; Crane Bank Limited, Teefe Bank, International Credit Bank, Greenland Bank, Global Trust Bank, Cooperative Bank ne National Bank of Commerce.
KADAGA AYONGEDDEYO EKISANJA KYA KATU NTU Sipiika wa Palamenti RebeccaKadaga ayongedde akakiiko ka COSASE obudde basobole okumaliriza okunoonyereza ku bbanka z'ebyobusuubuzi ezaggalwa.
Ekisanja ky'abakulembeze b'akakiiko eky'emyaka ebiri n'ekitundu nga Abdu Katuntu ye ssentebe n'omumyuka we Anita Among kibadde kiggwaako nga January 16, 2019.
Kadaga yategeezezza Palamenti ku Lwokuna nti olw'obukulu bw'okunoonyereza okugenda mu maaso yasazeewo okwongezaayo ekisanja kya Katuntu okutuuka nga February 20, 2018.
Asuubira nti bajja kuba bamalirizza okuwandiika lipooti ekwata ku bye banaaba bazudde. Yawandiikidde n'akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Betty Aol Ocan ng'amusaba akkirize abakulembeze b'akakiiko bagende mu maaso.
Mu August, Ocan yalangirira enkyukakyuka mu bakulembeze b'akakiiko kano mwe yalondera Mubarak Munyagwa ku bwassentebe ne Moses Kasibante ku bumyuka bwa ssentebe.
Akakiiko ka COSASE kaddamu okunoonyereza ku mivuyo egyetobeka mu kuggala bbanka z'ebyobusuubuzi nga January 8, 2019. beeyongere okukola okunoonyereza ku kiki ekyavaako bbanka ezo okuggalwa