TOP

Sipiika wa Buganda azze engulu

Added 24th December 2018

SIPIIKA wa Buganda Nelson Kawalya azze engulu oluvannyuma lw’okumala ennaku nnya ng’ali mu ‘kkoma’ mu kisenge omulabirirwa abayi ekya Intensive Care Unit (ICU) mu ddwaaliro e Mengo.

 Sipiika Kawalya ku kitanda e Mengo.

Sipiika Kawalya ku kitanda e Mengo.

Embeera yabadde ya bunkenke nga teri akkirizibwa kumulaba ng'ali ku byuma ebimuyamba okussa.

Era mu nnaku essatu ezaasoose yabadde tategeera biri ku nsi. Yasoose kufuna ssennyiga n'aba bubi ku Mmande nga December 17.

Ku Lwokubiri embeera yatabuse ne bamutwala e Mengo. Okutya kweyongedde olw'abantu abatono abakkiriziddwa mu ddwaaliro bwe bataasobodde kumulaba ne bakoma ku kuwandiika mu kitabo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga y'omu ku bantu abatono abakkiriziddwa okumulaba.

Kyokka Katikkiro eyabadde ne mukyala we naye yamulambudde ku Lwakutaano ng'azze mu woodi ya Anne Walker (West Room 4) mu Albert Cook.

Yayogedde ne Bukedde eggulo n'agamba: Nnagwirwa ssennyiga omuzito n'okusesema, embeera y'obulamu bwange n'ebeera nga si nnungi.

Kwe kuleetebwa wano okutandika okujjanjabibwa. Mu ‘Intensive care' nnavuddeyo ku Lwokutaano nga mpulira bulungi era neebaza Katonda olw'okusobozesa abasawo bano okunzijanjaba, mbalabye bakugu," Kawalya eyabadde ayogera ng'omukka abaka mubake bwe yategeezezza. Dr. William Lumu y'amujjanjaba.

Yategeezezza nti agoberera bulungi amateeka g'abasawo okuli okumira eddagala mu budde.

Yagambye nti ayagala atuukirize amateeka g'abasawo asiibulwe adde eka, Ssekukkulu agiriire awaka.

Kawalya y'omu ku Bannayuganda abasinga ettutumu. Kabaka yamulonda okuba Sipiika mu 2013, kyokka ng'aweerezza nnyo mu Rotary okuva ku Rotary Club of Mengo, Rotary mu Uganda n'ensi yonna.

Akoleredde nnyo ekkanisa ya Uganda naddala Obulabirizi bw'e Namirembe gy'abadde omukubiriza w'Abakristaayo ow'obulabirizi bwonna okutuusa ekisanja kye lwe kyaweddeko omwaka oguwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...